Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza Abantu okugemesa abaana endwadde kattira nga n’omusujja gw’ensiri mwogutwalidde, mu kaweefube w’okutumbula eby’obulamu.
Abaana abagemebwa bebali wakati wÉmyezi 6 nÉmyaka 2.
Alipoota y’Ekitongole kyÉnsi yonna ekyÉbyobulamu ki World Health Organization eyÓmwaka 2024 ekwata ku Musujja gwÉnsiri, eraga nti Abantu Obuwumbi 2.2 bebazulwaamu Omusujja gwÉnsiri mu bbanga ery’emyaka 25 egiyise, nga ku bano Obukadde 12.7 bebaakafa omusujja guno okuva mu mwaka gwa 2000.
Mu mwaaka 2023 obukadde 263 bebajjanjabwa Omusujja guno, ate abantu emitwalo 59,7000 bebaafa Omusujja gwensiri, nga abaana abato bebasingako Obungi.
Bwabadde ayogerakoeri Bannamawulire mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda ne Uganda yonna okuwa abaana abato Omukisa okugemebwa Omusujja gw’ensiri.
Okugema kugenda kusasaanira ebitundu bya Uganda byonna mwekutaakolebwa omwaka oguwedde 2024.
Katikkiro ategeezezza nti okujjumbira okugemesa Abaana Omusujja gwÉnsiri kwakutaasa abazadde ensimbi zebabadde bamalira mu malwaliro, nga kino kittattana nÉbyenfuna byÉggwanga.
Wadde guli gutyo alipoota yékitongole ky’Ensi yonna ekyÉbyobulamu eraze nti okuva mu mwaka 2015 omuwendo gwÁbantu abafa omusujja gwÉnsiri gukendedde ebitundu 16%.
Enkola yÓkugema Abaana Omusujja gwÉnsiri yatongozebwa mu mawanga ga Africa 11 okuli Uganda, Nigeria, DR Congo, Tanzania, Mali, Burkina Faso, Sudan, Ghana nÁmawanga amalala.
Bisakiddwa: Kato Denis