Government okuyita mu ministry y’ebyebensimbi n’okutekeratekera eggwanga eri mu nteeseganya n’ebitongole ebitali bimu saako amawanga g’ebweru, okwewolayo ensimbi trillion 18 ezinaayamba okuddukanya eggwanga mu bbanga eritali lyewala
Alipoota efulumiziddwa ministry y’ebyensimbi ekwata ku mabanja g’eggwanga ,eraze nti December w’omwaka 2023 weyatuukira Uganda yali ebanjibwa trillion 93 n’obuwumbi 380.
Ministry y’ebyensimbi enyonyodde mu alipoota eno, etereddwaako omukono minister w’ebyensimbi Matia Kasaija nti yadde emabanja geyongera ,Uganda erina obusobozi okugasasula.
Ministry eno eraze nti ekiseera ekitali kyewala egenda kwewolayo ensimbi trillion 18 okuddukanya eggwanga.
Ministry eno eraze nti mu kiseera kino, government eri mu nteeseganya n’ebitongole ebiwerako okufuna ensimbi okuli ezigenda okuzimba oluguudo lwegaali y’omukka ogwa standard gauge railway etwalibwa ministry y’ebyentambula, okuzimba ekibangirizi kyabannamakolero e Kasese, okuwanirira embalirira y’eggwanga ,okuzimba obutale,enguudo n’okukulakulanya ebyobulimi
Ekirangiriro kino kijjidde mu kiseera nga parliament kyejje eyise embalirira y’eggwanga ey’omwaka 2024/2025 ya trillion 72, wabula nga ku zino government egenda kusobola kukungaanyako omusolo gwa trillion 31, zokka endala trillion 40 n’okusoba zakwewolebwa okuwanirira embalirira eno.
Ebitongole okuli world bank ,government byesibiddeko olukoba okugiwola ensimbi, wadde bank eno yalangirira dda nti SSI yakuddamu kuwola Uganda sente, olw’etteeka Uganda lyeyayisa eriwera omukwaano n’obufumbo obwekikula ekimu.#