Program Entanda ya Buganda nga 13 November 2023, ku cbs 88.8, abamegganyi; Ssemijja Nyansio eyafuna obugoba 26 ne Balunginsiiti Steven eyafuna 12 baasuumusibwa okugenda mu lumeggana oluddako ate Tamale Steven eyafuna obogaba 08 n’awanduka.
Biibino ebibuuzo by’entanda.
1. Tuwe erinnya ettongole ery’omusogozi w’empoomerezi ya Nnaalinnya Lubuga – Nnamuyige
2. Olugero: Butamanyiira – Bukussa n’omuyombi omukago
3. Tereeza ssentensi mu luganda olutuufu, Tuva mu lumbe kubuuza ku bafiirwa – Tuva mu kibi kubuuza ku baafiiriddwa
4. Ani yawandiika Ekitabo “Simudda nnyuma”? – Ham Mukasa
5. Abayeekera abaali bakulemberwa Yoweri Museveni, olutalo baalutandika nga basooka nakukuba nkambi y’amagye, baagikuba ku kyalo ki? – Kabbamba
6. Ekisoko kino kitegeeza ki? Ekintu okuba ng’obutta – Ekintu okuba nga kiri mu bungi
7. Tuwe amannya ga munnamawulire wa cbs asaka okuva e Ntebe – George William Kakooza
8. Olubuto oluyitibwa olw’akabanika lwerutya? – Olubuto oluba waggulu
9. Tuwe omuzizo omukulu ku mwenge Sseruti gwayiisiza Kabaka – Bwebaba basogola tebagulinnyamu nabigere
10. Olugero: Bwolaba omukulu afungizza – Nga kaagoba kalyibwa
11. Jjo twasuze mu kyalo, tereeza sentensi – Eggulo twasuze mu kyalo
12. Ani yawandiika ekitabo “Omulangira Nuuhu Mbogo” – Hafiswa Nnakabiri ne Mutyaba
13. Museveni ne banne baatandika ddi okuyeekera gavumenti ya Obote – ennaku z’omwezi. 06.02.1981
14. Amakulu ag’ebuziba ag’ekisoko, Ekintu okugula omuddu n’omwana – Ekintu okuba ekyobuseere
15. Ani asaka amawulire ga CBS okuva e Mityana? – James Kaana Ssebuguzi
16. Olubuto olw’ekisero lwerutya? – Lwerubuto olunene ennyo
17. Ani amyuka Sseruti mu mulimu gw’obusenero bwa Kabaka? – Omutaka Kabu
18. Olugero: Bulungi siddy – Ssinga ekkajjo ly’enjovu liwangiza muzibu
19. Tereeza sentensi, Bwetwafiirwa luli bannaffe baatuleetera ebyokukozesa mu lumbe – Bannaffe baatuleetera amabikwa
20. Ani yawandiika ekitabo Mirembe? – Aloysius Matovu Joy
21. Mujaasi ki eyasooka okufulumya essasi abayeekera ba Museveni nga balwanyisa Obote? – Omugenzi Gen Elly Tumwine
22. Tuwe amakulu amakusike agali mu kisoko, Omuntu okudda omuntu ng’enda y’embuzi bwedda omuntu Okutamwa ennyo ekintu
23. Omusasi w’amawulire ayitibwa Consolanta Taaka asakira wa? – Woobulenzi Luweero
24. Olubuto olw’endere luba lutya? – Luba luwanvu
25. Mu bakabaka ba Buganda ani gwebasooka okuyita Kabirinnage? – Ssekabaka Ssuuna II
26. Ekika ky’engabo eno kyekyokka omukazi kyakkirizibwa okukwata, Kika ki ekyo? – Ekibbo
27. Olugero; Alikuliira omwana – Omuteresa taba
28. Tuweeyo amannya asatu agayitibwa Kabaka w’e Wamala – Ye Ssekabaka Ssuuna II, Ssemunywa, Kyetutumula, Kalemakansinjo.
29. Ekyoto Ggombolola ekibeera ku mulyango Wankaaki, enku zaakyo ziva ku muti ki? – Mukookoowe
30. Ekisoko, Okuwetwa emmeeme kitegeeza ki? – Kunakuwala
31. Kabaka Mwanga I Enju ye yagiwa linnya ki? – Kungaanya
32. Lumonde omuganda afumbibwa n’ebikuta aweebwa mannya ki? – Ow’empale
33. Ekipimo omuganda mwapimira emmwanyi enfumbe – Ettu
34. Enku zebayita akasiki zitemwa mu muti ki? – Kasaana
35. Olugero: Ekitentegere gyebakyagala – Gyebakyalirira omusala.
36. Omukulu w’ekika asembayo waggulu, linnya ki erimuweebwa okumwawula ku balala? – Omutaka w’akasolya
37. Ebika bibiri ebirina obutaka bwabyo mu Bulemeezi? – Entalaganya ne Enkula
38. Omuntu omuyi ennyo, abaganda basobola okutegeera nti akyali mulamu, ategeerera wa? – Mu kiseke oba mu bigere
39. Lubaale Muwanga bweyabanga alagula akozesa ki? – Ngatto
40. Ekipimo omuganda mwapimira obugazi bw’olubugo? – Omutanda
41. Ekisoko, Okuluyiwako amazzi – Okukomya olugambo
42. Akagogo akawetebwa nekassibwa mu lyato baseneremu omwenge kaweebwa linnya ki? – Akatiba
43. Olugero: Ssempaka nnemeremu – Zikubya mukyawe
44. Ennyanja Albert eyitibwa etya mu Luganda? – Muttanzige
45. Akawuka akalya empeke z’omuwemba kaweebwa linnya ki? – Nsingiisira
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K