Boogere Richard yafunye obugoba 32 ne Balunginsiiti Stevens eyafunye obugoba 18 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Nsubuga Hassan eyafunye obugoba 14 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda ebya nga 29 November,2023 ku CBS FM 88.8.
1. Tereeza ssentensi mu luganda olutuufu. Omusituzi w’akalira ka Kabaka ye Kimbugwe – Omukongozzi w’Omulongo wa Kabaka ye Kimbugwe
2. Amakulu g’olugero Ennindiriza yamezza ssemitego – Ng’onookola ekintu tokikandaaliriza
3. Abalimi ba lumonde balina ekigambo Amayingo, kitegeeza ki? – Lumonde omunene abalira mu bukata obutono
4. Emigaso gy’embwa nga gyekuusa ku buwangwa bwa Buganda – Eyigga ate muziro
5. Ekigaji kikaawa be – Be kka
6. Ani yawandiika ekitabo Omuzimu gwa Kasooba? – Namutete Kawere
7. Omuganda ow’omulembe guno ayinza atya okulwanyisa envunza? – Ng’atandaaza mu nju ye ne cement n’okunaaba entakera
8. Magezi ki agali mu kutangira omukazi ali olubuto obutalya gonja? – Kubanga bwamulya ayinza okuggwawo ate ng’ayakozesebwa okuzibikira ekkundi
9. Tereeza ssentensi, Mutabani wa muwala wa Kabaka agenze – Ssaava agenze
10. Amakulu g’olugero, Emmeeme etejuuba ekwogeza munno kyatalyerabira – Tetusaana kwogera binyiiza bannanffe nga webali
11. Nnamuluuta mu lumonde kitegeeza ki? – Lumonde akuze ng’atuuse okuliibwa
12. Enjawulo wakati w’ekikuuno n’ensole – Ekikuuno ky’ekibinja ky’embwa nga ziri mu ddembe ate ensole akabwa akato akaakakuula amannyo
13. Eggumba limenyese bbe – Be ttwa
14. Ani yawandiika byotamanyi ku Yesu? – Kasawuli Richard
15. Mpa ebintu bibiri ebiva mu kulumwa envunza – Embaliga n’amaga
16. Abaganda baziza nti omukazi owolubuto tateekwa kuyomba, lwaki? – Nti omwana gwanaazaala naye ajja kuba omuyombi
17. Tereeza ssentensi mu luganda. Tugenda kukkyalira Kabaka enkya – Tugenda Kulanya ewa Kabaka
18. Anakulu g’olugero: Gwosussa emmwanyi omusanga ku Mayanja nga yawungula – Kyamagezi oobutanyooma muntu yenna
19. Mannywangwa mu lumonde kitegeeza ki? – Lumonde owa kyemeza
20. Ebintu bibiri ebiwanuuzibwa ku mbwa – Mbu embwa okuzibula ku kyalo kusooka kufaako muntu
21. Nneeyiyeeko amazzi nga gannyogoga be – Be nnyogonnyogo
22. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome ebyensibo? – Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu
23. Engeri ez’ennono mu kulwanyisa envunza – Okumaala ennyumba n’okuzitundula
24. Lwaki abaganda batangira omukazi owolubuto okubuuka olusalosalo – Ayinza okuseerera n’agwa
25. Ssinga omuntu akutuma olusaggo lw’ensimbi, otegeera nti akutumye ki? – Ensimbi Enganda nga ziri ku luwuzi
26. Ab’eddira omutima omusaji, akabbiro kaabwe kekaliwa? – Muzibiro
27. Olugero:Munno atunda nti nze ngula – Nti ekimutunza okimanyi?
28. Mu bitundu by’e Ntebe eriyo amasiro, mbuulira Kabaka nnyini masiro ago n’ekitundu kwegasangibwa – Kabaka Buganda e Lunnyo
29. Mpaayo ebigambo bibiri nga bisobola okutegeeza ekikolwa ky’okuziika omuliro – Okuvumbika, Okukoomera
30. Aboosi b’akasana balina akasana kebayita ensonoonsi, Erinnya Nsonoonsi liggwayo litya? – Nsonoonsinkya
31. Okulaaliza enkonyogo, kisoko kitegeeza ki? – Okulaama
32. Omuganda omuntu gwayita entakula manda yaaba atya? – Omuntu awakulawakula entalo
33. Emmeeme okukuba ejjebe – Kusanyuka nnyo
34. Bikalubitaaka, kitegeeza ki? – Emmere y’omuttaka n’ejjinja ly’omukyoto
35. Olugero: Embuzi ekogga – Nnyini yo n’agisanga
36. Omuzizo ogudda ku mazzi agassibwa mu mubisi ogugenda okubikkibwa? – Tegajjibwa ku nzizi zanjawulo
37. Omuzizo ku lumonde eyekweka mu lwaliiro – Taliibwa nnyinimu
38. Omwana azaalibwa ng’alina ekiba ku mubiri aweebwa linnya ki? – Mpuuga
39. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu ekigambo Ekiggu, kitegeeza ki? – Omuggo gw’omulubaale
40. Kkoyi kkoyi, Enku zaakala nezibulako atyaba – Amayembe g’ente
41. Obulo obusibiddwa awamu buyitibwa butya? – Empu
42. Olugero: Lukya kamwa – Nerusigala ku mwoyo
43. Walugongo mu nsolo z’omunsiko – Omusu ogusigala ku nsiko ogumu gwokka
44. Empologoma enkazi ekola eddoboozi, eddoboozi eryo liyitibwa litya – Okuwuunuuna
45. Obutiko Omuganda bwayita Mpeefu, bumera mu kifo kya ngeri ki? – Bumera ku kiswa ekisejjere
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K