Ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya NEMA n’ekitongole kya KCCA bamenya amayumba n’okugoba abantu abesenza mu ntobazi z’omugga Lubigi .
Ennyumba ezisoba mu 150 zezimenyeddwa mu ntegeka y’okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Abamu ku batuuze be Gganda abamenyeddwa ennyumba zabwe bategeezezza CBS tebaweereddwa budde kwetereeza, nebakukkulumira n’ekitongole kya NEMA olw’okumenya amayumba gabwe, ate ekkolero eriri mu kitundu kye kimu nebalirekawo.
Ekanisa y’abalokole eya YIMUSIBWA MINISTRIES INTERNATIONAL yeemu ku bimenyeddwa.
Rebecca Ssabaganzi akulira ekitongole ky’obutonde bw’ensi n’obuggaga obwensibo mu district ye Wakiso agamba nti bbo ng’abakulembeze ku district tebalina buyinza bumala kwanganga bantu abesenza mu ntobazi, ekiretera abantu okufuna ebyapa mu ntobazi. .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo