Namutikkwa w’enkuba eyatonnye ku sunday wamu naakedde olwaleero okufudemba mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo, ayonoonye ebintu by’abantu abawerako mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.
Abatuuze be Buziga mu Makindye municipality abalese mu maziga.
Emyala mu kitundu ekyo jijudde nejibooga, olwo mukoka natandika okwanjaalira mu nnyumba z’abantu, n’okusuula ebikomera nebikuba ebintu naddala mmotoka ezibadde zisimbiddwa mu nziggya.
Mayor wa Makindye municipality Ali Kasirye Nganda Mulyannyama,agambye nti ekivuddeko amataba okwonoona ebintu mu kitundu kye Buziga, kwekuba nti abaawebwa omulimu gwókugaziya emyala baalemererwa okukola omulimu gwebaasaba.
Mulyannyama agambye nti guno sigwemulundi ogusoose enkuba okwonoona ebintu byábantu mu kitundu kino, nti naye abavunaanyizibwa ku nsonga eno tebalina kyebaakolawo.
Awanjagidde olukiiko oluteekerateekera ekibuga Kampala okuteekawo akakiiko akenjawulo, kanonyereze ku ba engineer abaawebwa omulimu gwókugaziya nókuzimba emyala babitebye.
Mu ngeri yeemu ebitundu ebirala bingi mu Kampala bikoseddwa amataba, enguudo zisaliddwako.