Abatuuze ku kyalo Sityoole mu gombolola ye Buhemba mu district ye Namayingo basuze mu kyangaala, abalala basuze ku muliraano olwa nnamutikkwa w’enkuba eyasudde amayumba gabwe.
Enkuba eno efukumuse ng’empeendule esudde amayumba g’abatuuze, emiti, ebirime bisanyeewo n’ebisolo bingi bifudde.
Amyuuka Rdc e Namayingo Baleke Solomon agambye nti abatuuze abasinga basuze ku miriraano ku byalo ebiriraanyeewo, ate abalala babudamye ku gombolola e Buhemba.
Awanjagidde wofiisi ya Ssabaminister ebaddukirire ng’embeera tenasajjuka.
Bisakiddwa: Kirabira Fred