Amawanga 8 gakakasiddwa okwetaba mu mpaka za Cricket ezabakazi eza ICC Women’s T20 World Cup qualifiers, ezigenda okubeera mu Uganda.
Empaka zaakubaawo okuva nga 09 okutuuka nga 17 December,2023 e Ntebe.
Uganda eri mu kibinja B ne Nigeria, Rwanda ne Namibia ate nga mu kibinja A mulimu Zimbabwe, Kenya, Tanzania ne Botswana.
Uganda ejja kuggulawo empaka zino nga ettunka ne Rwanda nga 10 december, ezeeko Namibia nga 12, olwo mu kibinja esembyeyo Nigeria nga 14 december,2023.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe