Abantu ba Kabaka abawaangalira e South Africa beetabye mu misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka guno 2024, gibadde mu Provinces 3 okuli; Northern Cape e Kimberly, Western Cape e Perathetic Stadium ate mu Eastern Cape gibadde e George.
Abantu ba Ssaabasajja e South Africa essira balitadde ku nsonga 3;
Okulwanyisa mukenenya okubeera abalamu, Okwenyigira mu nteekateeka ya Luwalo Lwaffe buli kiseera era kw’olwo lw’e batongozza Luwalo Lwaffe owa 2024 e South Africa, n’Okubeera Obumu okusobola okwekumakuma okuweereza obulungi n’okutambulira awamu.
Omubaka wa Ssaabasajja Owek. Dennis Lugoloobi yasimbudde abaddusi mu Western Cape province mu Perathetic Stadium.
Emisinde gyetabiddwamu abaami ba Kabaka ab’enjawulo okuli Dr. Ddamulira William, Mw. Kasolo Jesus Christopher – Ssentebe wa Ggwangamujje, Mw. Paddy Mubiru – Ssentebe wa Agali Awamu ne Ssentebe w’Abakiise b’Abataka Mw. Kisawuzi Gerald.
0
Noeline Nanfuka yasinze abaddusi bémisinde e SouthAfrica, egyÁmazaalibwa ga Beene agemyaka 69, era ye ne banne bawangudde emidaali.#