Omwezi omutukuvu ogwa Ramathan 2025 gukomekkerezeddwa.
Obubaka obuvudde e Saudi Arabia bulaze nti omwezi gubonese era Eid El-fitir neerangirirwa nti yaankya ku Sunday nga 30 March, 2025.
Abaddu ba Allah abatanawa Zakatul fitr bakubiriziddwa okugenda bagiwe nga Eid El-fitr tenasaalibwa.
Akulira ebyeddini ku muzikiti e Kibuli Sheik Yasir Kulumba agambye nti okusala Eid Elfitir ku kasozi Kibuli kwakutandika ku saawa 4 ezokumakya era kugenda kukulemberwamu Supreme Mufti wa Uganda Sheik Muhammed Shaban Galabuzi.
Ku muzikit gwa Kampala mukadde okusala Eid bwakutandika ku saawa 3 era kugenda kulemberwamu Mufti wa Uganda Dr Sheik Shaban Ramathan Mubajje.
Dr Zaid Lubanga, atwala ebyeddini e Kampala mukadde asabye abantu okukwata obudde baleme kusaanga swalati Eid Elfitir ng’ewedde okusalibwa.#