President wa Rotary mu nsi yonna Dr. Stephanie Urchick akiise embuga mu Bulange Mmengo.
Ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’abakulembeze ba government ya Kabaka ab’enjawulo.
Dr. Strphanie Urchick awerekeddwako banna Rotary okuva mu bibiina eby’enjawulo.
Katikkiro asuubizza nti Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okukwatagana n’Ebitongole kko n’Ebibiina ebiwagira ebyobulamu n’Embeera z’Abantu , ng’omu ku kaweefube w’okuzza Buganda ne Uganda ku mugendo.
Akinogaanyizza nti obuweereza bwa Rotary eri ensi eno bukoze kinene mu kukyuusa embeera z’Abantu, era nga n’Obwakabaka kyebuliko.
Akulira Rotary mu Nsi yonna Stephanie Urchick, ategeezezza nti mu nkolagana n’Abantu ab’Emitima emirungi, government n’Ebitongole, Rotary yakutuuka ku buwanguzi obwenjawulo.#