Bannamawulire abasaka ag’ebyemizannyo mu Uganda abegattira mu kibiina kya Uganda Sports Press Association USPA, balonze abaddusi Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo nga bannabyamizannyo abaasinga banabwe okukola obulungi mu mwaka 2021 ne 2022.
Omukolo gw’okutikkira engule bannabyamizannyo bano gubadde ku Imperial Royal Hotel mu Kampala, era Joshua Cheptegei yatikiddwa engule y’omwaka 2021.
Cheptegei ajjukirwa mu 2021 okuwangula omudaali gwa zaabu ne feeza mu mpaka z’ensi yonna eza Olympics ezaali e Tokyo Japan mu misinde gya mita omutwalo 1 ne 5000.
Eno y’engule ya Joshua Cheptegei ey’omulundi ogw’okusatu eya USPA, ng’ezasooka zaaliza 2018 ne 2019.
Mungeri yeemu omuddusi Jacob Kiplimo yatikiddwa engule y’omwaka 2022, era nga awangudde engule ya USPA omulundi gwe ogusooka.
Kiplimo okutuuka ku buwanguzi buno yawangula emidaali gya zaabu 2 mu mita omutwalo 1 ne 5000 mu mpaka za Commonwealth Games ezaali mu Birmingham Bungereza.
Bisakiddwa: Isa Kimbugwe