Abawagizi ba club ya Arsenal eya Bungereza bakyaabinuka masejjere, olw’obuwanguzi bwe batuseeko mu kiro ekikeseza olwaleero, bwebakubye Real Madrid eya Spain goolo 3-0 mu mupiira ogubaddeko n’obugombe. Omupiira guno...
Club ya Police egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, efuumudde abadde omutendesi waayo Simon Peter Mugerwa, nga bamulanga olw'omutindo gwa club eno ogukyagaanye okweyongerako. Simon...
Ekibiina ekiddukanya omupiira ku ssemazinga Africa ekya CAF, kironze ddifiri munnayuganda Shamirah Nabadda, okulamula mu mpaka za Africa Cup of Nations eza 2025 ezabazannyi abatasussa myaka 20 egy'obukulu. Empaka...
Obululu bw’omutendera gwa semifinal obw’empaka z'amatendekero agawaggulu ez’omupiira ogw’ebigere eza Pespsi University Football League bukwatiddwa, zisigaddemu University 4. Obululu buno bukwatiddwa ku Kati Kati Restaurant e Lugogo mu Kampala....
Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira ogw'ebigere eya Uganda Cranes, emezze Guinea ku goolo 1-0 mu mpaka ez'okusunsulamu amawanga aganakiika mu FIFA World Cup omwaka ogujja 2026. Omupiira guno guzannyiddwa mu...
Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kikakasizza baddifiri bannansi ba Democratic Republic of Congo, okulamula omupiira wakati wa Uganda Cranes ng'ettunka ne Guinea mu mpaka ez'okusunsulamu amawanga aganaakiika...
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes ekiguddeko Mozambique egikubye goolo 3-1 mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu FIFA World Cup anaberawo omwaka ogujja 2026. Goolo ya Uganda emu...