Abantu 6 bebaayiseewo okuvuganya mu luzannya olw'akamalirizo, olunabaawo mu Enkuuka Masavu 2024 nga 31 December,2024 mu Lubiri e Mengo, okulondako anafuuka Omuziramubazira wa 2024.
Program Entanda ya Buganda yatandika ku Radio ya Kabaka CBS mu 2003, n’ebigendererwa eby’enjawulo byonna nga bisimbye mu kiragiro kya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ekyatandisaawo Radio eno. Program...
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku musolo mu ggwanga ekya URA kironze akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS, Abby Mukiibi ng'omukozi asinze okusomesa banna Uganda ensonga z’omusolo nebazitegeera bulungi. Ekitongole kino kigamba nti...
Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Radio CBS buwaddeyo ensimbi obukadde bwa shs 206,325,000/= eri abaddukanya eddwaliro ly’e Nkozi nga zino zeezaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka guno zikozesebwe okuzimba ekifo...
Mbaziira Tonny Omuweereza ku CBS emmanduso 89.2 ng'asitudde engule okuva mu HI Skool Wards ey’Omuweereza asinga okunyumisa Program. Yawangudde n'engule endala eya Program Sunday Mega Drive nga program y'omwaka. Sunday...
Abayizi essomero ly'omuzira mu bazira owa 2011 erya Kings Choice junior School e Busiika boolesezza ebitone nga bayita mu kuyimba n'okuzannya emizannyo. Babadde ku mukolo oguggalawo omwaka 2024, era omukwanaganya...