Abasawo abegattira mu kibiina ekya Uganda Medical Association (UMA), beekubidde enduulu eri abakulira ministry y'ebyobulamu ku kusoomozebwa kwebayitamu oluvannyuma lwa government okuyimiriza okuwa ensako eri bannabwe ababeera bakyagezesebwa mu malwaliro....
Omusawo ku ddwaliiro ekkulu erye Lyantonde Dr Saimon Didas Turwahebwa, akwatiddwa ab'eby'okwerinda, kigambibwa abadde aggye enguzi ya mitwalo mukaaga okuva ku mulwadde Norah Tukwiriza. Dr. Saimon Didas Turwahebwa,akuumibwa ku kitebe...
Abakulembeze ba district ye Bukomansimbi bennyamidde, okukizuula nti abamu ku basomesa mu masomero ga government aga primary abaali baapoondooka nebava mu kediimo era nebaddayo ku masomero nti kyali kigumaaza kyenyini,...
Ekibiina ekitaba abakugu mu nzirukanya y'ebyuuma ebikozesebwa mu malwaliro ekya Uganda National Association for Medical and Hospital Engineering, kyagala government eyongere ensimbi mu buweereza buno ng’egula ebyuma ebituukana n'omulembe. Bano...
Police e Ssembabule eri ku muyiggo gw’omusajja Ssempogo Mark agambibwa okukkakkana ku Mukazi we n’amukuba akakumbi akamusse. Obutemu buno bubadde ku kyalo Bweyare, e Kikoma mu Ggombolola y’e Mabindo, district...
Ababaka mu parliament batabukidde omubaka wa Bukoto south Twaha Kagabo abadde aleese ekiteeso nti abakyala balekeraawo okuzaala bettanire enkola ey’ekizaala ggumba, mu kifo ky'okugendanga mu malwaliro nebatasangayo bikozesebwa. Parliament ebadde...
Banna Uganda naddala abateekateeka okuyingira obufumbo basaanye okusooka okwekebezanga endwadde ya Nnalubiri nga tebanafumbiriganwa, okukendeeza ku muwendo gw'abaana abazaalibwa nr Nnalubiri oba sicklecell. Ministry yeebyobulamu egamba nti ssinga kizuulibwa...