Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa olukulirwa Omuk. Dr. Ssonko Robert Kanaakuloopa-Kisekwa. Kamalabyonna agambye nti olukiiko luno alulinamu essuubi ddene okugonjoola enkaayana zonna ez’ebika ezitwalibwayo, mu bwangu...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi nÁbalunzi mu Bwakabaka okuwabulangana nÓkuwaηana Amagezi ku nnima ezza amagoba, bonna bagaggawalire mu Mwaanyi. Katikkiro abyoogeredde mu Ssaza Kyaggwe bwabadde alambula abalimi...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab'enju y'omugenzi era abadde munywanyiwe, Omulamuzi Prof. George Wilson Kanyeihamba. Obubaka bwa Ssaabasajja bwetikiddwa Omulangira Rev Daniel Kajumba, era ng'abukwasizza mulekwa...
Kooti enkulu eyimirizza bonna ababadde besomye okutwala ettaka lya Ssaabasajja Kabaka erisangibwa e Kaazi mu Busiro, nga bagendera ku biragiro bya minister omubeezi owÉttaka nÁmayumba mu government eya wakati Sam...
Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti tebunaweebwa nsimbi nkalu okuva mu ministry y'ekikula ky'abantu mu government, ezigambibwa zezaakkanyizibwako okubuwa mu kifo ky'emmotoka eziweebwa abakulembeze b'ennono mu Uganda. Government eyawakati yagabidde abakulembeze...
Abavunaanyizibwa ku kwaniriza abagenyi mu Bwakabaka bwa Buganda baweereddwa amagezi babeere basaale mu kukuuma ekitiibwa kyÓbwakabaka, nga bakola emirimu gyabwe mu ngeri ey'ekikugu. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agguddewo ekizimbe gaggadde ki Meeru Building wakati mu Kibuga Masaka, ekizimbiddwa abeegassi okuva mu Buddu CBS PEWOSA SACCO. Ekizimbe ekigguddwaawo kiwezaako emyaliiro etaano, era...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Abaami ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo okwongera okunyweeza n'okukuuma eby'obugagga bw'Obwakabaka ne Kabaka naddala Ettaka, lireme kubbibwa bannakigwaanyizi. Abadde asisinkanye Abaami b'Amasaza ga...