Obwakabaka bwa Buganda busabye abakulira ebitongole byabwo byonna okunyweza enkolagana mu buweereza bwa Ssaabasajja Kabaka, nga biteeka mu nkola okuluηamizibwa kwa ssemunywa okwenjawulo. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambise Abavubuka ku mitendera gy’Obukulembeze gyonna okunyweeza Obumu mu kifo ky’Okwegulumiriza nga baweereddwa obukulembeze. Abadde atongoza olukiiko oluggya olwa Nkobazambogo mu ggwanga lyonna ku...
Obwakabaka bwa Buganda busanyufu olw'enkolagana ennungi eriwo ne bannamikago ku mitendera egyenjawulo, abeetegese okukwasizaako Buganda ne Uganda mu kaweefube w'Okutumbula ebyenfuna. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw'abadde alambula Kampuni...
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ii alagidde abantube mu Buwarabu Okwongera okunyweeza Obumu, Okumanya ebibasomooza n'Okubikolerako mu mukwano ogutaliimu Bukuusa. Mu bubaka Ssaabasajja Kabaka bwaatisse Katikkiro wa Buganda...
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde “Omuzaana” w’Omulangira w’e Bungereza Edward l, nga ye Katherine Kent (Duchess of Kent) eyavudde mu bulamu bw'ensi ku myaka 92 egy'obukulu. Ku lwa Buganda,Katikkiro Charles Peter...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alaze Obwetaavu bw'okuzimba Amatendekero g'abakugu mu by'Obulamu mu ggwanga omuli ebikozesebwa ebyomulembe, kiyambeko mu kufulumya abakugu abatuukana n'omulembe. Katikkiro abadde asisinkanye abakulira ebbanguliro ly'Abasawo...