Emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka egy'omulundi ogwe 12 okuva lwejaatandikibwawo, gitongozeddwa ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, nga gyakubaawo nga 06 April,2025. Emisinde gyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti "Abasajja tube...
Omulangira Daudi Simbwa Kazibwe Golooba mutabani wa Ssekabaka Muteesa II. Omulangira Omubuze Golooba olugyiddwa ku muzikiti e Kibuli gy'asaaliddwa essaala ya Salat al-Janazah, atwaliddwa butereevu mu masiro e Kasubi n'ayingizibwako...
Omulangira Daudi Golooba yazaalibwa nga 14 April,1953, yafudde nga 23 February,2025 mu ddwaliro e Nsambya. Wabaddewo okumusabira edduwa mu maka ge e Kiwafu Kansanga mu gombolola ye Makindye mu Kampala...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, abikidde Obuganda, olw'okuseerera kw'Omulangira Daudi Golooba avudde mu bulamu bw'ensi, ku myaka 71 egy'obukulu. Omulangira Ggolooba aseereredde mu ddwaliro e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa,...
Enkola ya Luwalo Lwaffe ey’omwaka 2025 etongozeddwa mu luggya lwa Bulange e Mmengo. Mu nkola eno abantu ba Kabaka okuva mu masaza ag’enjawulo munda mu Buganda n’ebweru mwebayita okukiika embuga...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okwongera okufa ku bulamu bwabwe nga balya emmere erina ebiriisa ebiyamba omubiri, nÓkwettanira okwebuuza ku basawo babalambike. Katikkiro abadde mu kuziika Mwannyina...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naawa abaana 35 sikaala enzijuvu mu masomero agenjawulo, nga zino zaakumala emyaka ena miramba. Abayizi abaweereddwa sikaala beebo abagezi ebitagambika kyokka nga bava...
Obwakabaka bwa Buganda busse Omukago ne kampuni enkozi y’Ebijimusa n’eddagala ly’ebirime eya Grain Pulse,n’ekigendererwa ekyokusitula ku mutindo gw’ebyobulimi mu Buganda. Mu mukago guno Obwakabaka bwa Buganda bwakuyambibwako mu kubangula...