Abayizi mu masomero n’amatendekero ga Buganda nga geegattiddwako amasomero ag'obwannannyini banywanyi ga Buganda bakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe (Tondeka mu Luwalo) n’ettu ly'ensimbi obukadde bwa shs 92 n’omusobyo....
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde wabeewo empuliziganya eya nnamaddala wakati wa Bannabyabuifuzi abassiddwamu Obwesige nebalondebwa mu kalulu akaakaggwa aka 2026, okukola ebintu eby'ensonga ku lw’Enkulaakulana ya Uganda eya...
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza omuyungagano (Link) ogugenda okweyambisibwa banna Uganda okusonderako ensimbi z’okuzimba ekifo awanaakyusizibwanga obusomyo mu balwadde ba Nnalubiri. Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe Bank y’ebyobusuubuzi ey’eggwanga; Pearl Bank...
Obwakabaka bwa Buganda butongozza oluzzi lwa Nnayikondo ku ttendekero ly'ebyemikono erya Kasawo Institute of Business and Technical Education. Ettendekero lino liri mu ssaza Kyaggwe ku kyalo Namaliiri mu gombolola...