Obwakabaka bwa Buganda busse Omukago ne kampuni enkozi y’Ebijimusa n’eddagala ly’ebirime eya Grain Pulse,n’ekigendererwa ekyokusitula ku mutindo gw’ebyobulimi mu Buganda.
Mu mukago guno Obwakabaka bwa Buganda bwakuyambibwako mu kubangula abalimi ku nnima ezza amagoba, enkozesa y’Eddagala ennuηamu, enkozesa y’Ebijimusa n’ensonga endala nyingi, nga bugenda kuyisibwa mu kitongole ky’ebyobulimi mu Buganda ki BUCADEF.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika w’Obwakabaka Owek. Robert Wagwa Nsibirwa, ategeezezza nti mu Ntekateeka ya Nnamutaayiika agobererwa (2023-2028) Obwakabaka bwagala nnyo abalimi bafune ebikozesebwa mu kulima ebigwanidde, kikendeeze ku kufiirizibwa abalimi n’Abalunzi kwebayitamu, n’Okusitula ebyenfuna byabwe.
Owek Nsibirwa agambye nti enkozesa y’Ebijimusa ebituufu mu mawanga agakulaakulanye, eyambye nnyo abalimi okugaggawala, kwekusaba government ya Uganda eyongere amaanyi mu kulwanyisa abayingiza ebikozesebwa mu bulimi ebicupule.
Minister w’Ebyobulimi Obulunzi n’Obweegassi mu Bwakabaka Owek Hajji Hamis Kakomo, ategeezezza nti waliwo essuubi ddene nti Obungi bw’Emwaanyi mu Buganda ne Uganda yonna bwakweyongerera ddala, kuba nga ekijimusa kino kigezeseddwa ku mwaanyi ezisinga okwettanirwa ku Katale k’Ensi yonna.
Akulira ebyensimbi mu Kampuni ya Grain Pulse Fredrick Petrus ategeezezza nti okunoonyereza okukoleddwa ku ttaka lya Africa kuzudde nti ddungi ebitagambika ssinga liriikirizibwa Ebijimusa, nga mu gamu ku Mawanga agagezeseddwa Tanzania yeyongedde okweriisa Enkuuli mu kufulumya Kasooli omungi ku katale k’Ensi yonna , oluvannyuma lwokukozesa ku kijimusa kino.
Bisakiddwa: Kato Denis