Eyali Ssaabasumba w’essaza ly’e Mbarara Paul Bakyenga aziikiddwa mu lutikko ya Ekeleziya ya Our Lady of Perpetual Help e Nyamitanga mu kibuga Mbarara.
Abakungubazi bamutenderezza ng’omuntu abadde ayagala ennyo eddiini ye era akoze obuteebalira okubunyisa enjiri ya kristu.
President Yoweri Kaguta Museven yalagidde nti Ssaabasumba Paul Bakyenga aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga.
Ssaabasumba Bakyenga yazaalibwa ku kyalo Bumbaire Igara mu district ye bushenyi nga 30 June,1944.
Yatandika okusoma obusebinaaliyo mu 1961 mu kitabi Seminary, n’atikkirwa okufuuka Omusasorodooti mu 1971.
Yaweerezaako mu kigo kye Nyamitanga, n’asomesa mu simimaaliyo e Kitabi, era yaliko pastoral cordinator ku lutikko ye Nyamitanga.
Yatuuzibwa ng’omusumba w’essaza lye Mbarara nga 02 January,1990.
Omusumba Bakyenga yadda mu bigere by’omugenzi Bishop John Baptist Kakubi eyali awummudde emirimu gy’obusumba.
Essaza ly’eMbarara bweryasuumusibwa nerifuuka Archdiocese, Bishop Bakyenga yeyasooka okubeera Ssaabasumba walyo okuva mu 1999 okutuuka nga 25 April,2020 lweyawummula.
Ssaabasumba Lambart Bainomugisha aliko era yeyadda mu bigere bye.#