Ba Ssentebe ba districts mu Buganda basazeewo okunoonya emikono egiwagira ennongosereza mu ssemateeka w’eggwanga, nga bagala eggwanga lidde ku nfuga eya Federo.
Bagamba nti enkola ya government ey’okugabana obuyinza wakati wa government eya wakati n’ebitundu ebikola Uganda, yakuyamba okulwanyisa obwavu n’okusaawo enkulaakulana ey’omuggundu.
Ssentebe wa ba ssentebe ba district eziri mu Buganda era nga ye ssentebe wa district ye Kassanda Fred Kasirye Zimula agambye nti okutandika n’omwezi ogwa August 2023, ba ssentebe ba districts eziri mu Buganda bakutalaaga districts eziri mu bitundu ebirala okuperereza ba ssentebe banaabwe , babaguze ekirowoozo kya federo.
Mu nteekateeka eno bakussa emikono ku kiwandiiko ekiwagira ekiteeso n’oluvannyuma bakyanjukire ky’enfuga ya federal nga bwebakungaanya nemikono egiwagira ekiteeso oluvanyuma bakyanjulire governmnent.#