
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde emirimu egikolebwa mu masiro e Kasubi naddala egy’okuyooyoota Muzibwazaalampanga, neyebaza bonna abakoze ekisoboka okuddaabiriza Amasiro,okuva mu 2013 kaweefube ono lweyatandika.

Katikkiro ng’ali wamu n’akakiiko k’ebyobuwangwa mu Bwakabaka akakulembeddwamu minister w’Obuwangwa ,Ennono n’Ebyokwerinda Dr. Anthony Wamala, ategeezezza nti emirimu emitonotono egibulayo okumaliriza Muzibwazaalampanga gyakuggwa mu bwangu ddala.

Ennyumba Muzibwazaalampanga ewuundiddwa munda n’Embugo ezirabika obulungi, ekiggyayo obukugu obwenjawulo obwoleseddwa mu kuzimba Muzibwazaalampanga mu nkola eggyayo omuwangwa n’ennono, n’enkola ey’omulembe gwa tekinologiya ow’ekiseera kino.

Okuyooyoota munda okutwaliza awamu kuwedde, kati kawefube assiddwa wabweru waayo.

Ennyumba Muzibwazaalampanga yakwata omuliro nga 16 March,2010 yenna naabengeya.
Muno mwemugalamiziddwa bassekabaka ba Buganda 3, era kifo kya nsi yonna kyabyabulambuzi.
Bisakiddwa: Kato Denis