Police mu district ye Bugweri eriko Omusajja kaggwe ensonyi gwekutte neggalira,ku bigambibwa nti asangiddwa ng’asobya ku mwana ebbujje lya mwaka.
Omukwate yakategerekekako erinnya limu erya Sharif wa myaka 30, ebujje lyasobezzaako lya mwaka gumu n’emyezi esatu.
Amawano gano gagudde ku kyalo Busiinda mu gombolola ye Igombe e Bugweri.
Maama w’o mwana (erinnya lisirikiddwa) agambye nti yasangidde ddala Sharif mu kikolwa, kwekukuba enduulu eyaleese abataka nebazingiza Sharif era nebamukwata.
Abatuuze okuli Kyoligwaku Zulaina ne Nakawooza Alisaat bagamba nti Sharif abadde atera okukyala mu maka gano, naye kibewunyisizza nnyo engeri gyasiwuuse empisa n’atuuka okukola ekikolwa eky’obukambwe ku mwana.
Mbega wa police e Bugweri Afande Twesigye Rogers agambye nti fayiro y’omusango emaze okukolebwako, era essaawa yonna bagenda kugiweereza eri kooti atandike okuwerenemba nogwokujjula ebitanaggya.