Ab’ebyokwerinda okuli amagye ne police galumbye ekyalo Kambaala mu gombolola ye Maanyi mu district ye Mityana, nebatandika okuwandagaza amasasi era omusajja ateeberezebwa okubeera omutujju attiddwa.
Attiddwa atanamanyika mannya kigambibwa nti asangiddwa n’emmundu.
Ssentebe w’ekyalo Kambaala Joseph Lukoda, agambye nti omusajja ono abadde yakasenga mu kitundu emyezi ebiri egiyise, n’apangisa ku nnyumba z’omutuuze ategerekeseeko erinnya limu erya Kayinja, era ng’abadde yajja ne mutabani we ali wakati w’emyaka 8 – 10 egy’obukulu.
Bweyatuuka mu kitundu n’apangisaako ettaka era naatandika okulima ennyaanya.
Abatuuze be Kambaala baawulidde masasi nga gamyooka mu kiro ssaawa nga 4, ekyazeeko kutegeezebwa nti omusenze attiddwa nga n’emmundu baasanze emugudde mu kifuba oluvannyuma lw’okuttibwa.
Police y’e Mityana omulambo eguggyewo negutwala wamu n’Omutabani.
Ab’ebyokwerinda tenannannyonyola bibaddewo mu lulumba luno.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebubuzi.