Empaka z’omupiira ez’ebigere eza Africa Cup of Nations eziyindira mu Ivory Coast zituuse ku tiimu eziggalawo omutendera gw’ebibinja, wasigaddeyo emipiira 4.
Equatorial Guinea eyiseewo okwesogga omutendera gwa ttiimu 16 nga ekulembedde ekibinja A n’obubonero 7, Nigeria nayo eyiseewo mu kifo eky’okubiri n’obubonero 7 ate Guinea Bissau ewanduse nga terinayo kabonero.
Mu kibinja kye kimu A abategesi aba Ivory Coast bakiguddeko Equatorial Guinea ebakubye goolo 4-0, era kati Ivory Coast emazeko ekibinja n’obubonero 3 mu kifo eky’okusatu, era kati basigadde ku bwakatonda nga basabirira okuyitawo nga ba best loser.
Nigeria nayo okuyitawo ekubye Guinea Bissau goolo 1-0.
Mungeri yeemu kibinja B, Cape Verde eyiseewo nga ekulembedde ekibinja kino n’obubonero 7, Misiri nayo eyiseewo mu kifo eky’okubiri n’obubonero 3.
Ghana ewanduse mu mpaka zino bw’egudde amaliri ne Mozambique ga goolo 2-2, wabula nga Ghana omupiira esoose kugukulembera goolo 2-0 olwo Mozambique n’evaako emabega n’egatta omupiira guno.
Ghana ewanduse n’obubonero 2 olwo ne Mozambique n’ewanduka n’obubonero 2.
Cape Verde egudde Misiri goolo 2-2 ate nga ne Ghana egudde maliri ne Mozambique goolo 2-2.
Emipiira egigenda okuggalawo omutendera gw’ebibinja, Gambia egenda kuttunka ne Cameroon ate Guinea egenda kuzannya ne Senegal, nga emipiira gyonna gya kibinja C.
Kusaawa 5 ez’ekiro, Mauritania egenda kuttunka ne Algeria ate Angola egenda kuzannya ne Burkina Faso mu kibinja D.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe