Abatuuze ku kyalo Nabwato mu gombolola ye Lwabenge mu district ye Kalungu bavudde mu mbeera nebakoonakoona amaka saako amasabo g’omusawo w’ekinnansi Ssempa Abudu, ku bigambibwa nti yeyasadaase omwana mu kitundu kino.
Abatuuze basoose kugwa ku kiwuduwudu ky’omwana omuwala Nabbaale Maria ow’emyaka 9 eyabula ng’ennaku z’omwezi 08 May,2024 baasanze yattibwa mu bukambwe ekiwuduwudu kye nekisuulibwa mu kibira kya kalitunsi.
Abatuuze ku kyalo Nabwato bwebafunye amawulire nti omusawo w’ekinnansi ku kyalo kino Ssempa Abudu police yamukutte n’emuggalira e Bukakkata mu Masaka, gyeyabadde agenze ku musawo munne mbu asibe omusango, ekibinja ky’abatuuze ku kyalo gyava nekizinda amaka ga Ssempa nebagakoonakoona saako okusanyaawo amasabo ge, era mukyala wa Ssempa n’abaana bataddeko kakokola tondeka nnyuma okwetaasa ku batuuze abakambuwadde.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Twaha Kasirye agambye nti Ssempa akwatiddwa ku kyalo Kabasese era ng’akuumibwa ku police ye Bukakkata mu district ye Masaka.
Omwana eyattibwa muwala wa Birimuye Mugerwa ne nnyina Nakate, wabula nga mu kiseera weyabulira yali abeera ne ssenga we era naye eyakwatiddwa era naye akyali mu kadduukulu ka police.
Kigambibwa nti Ssempa Abudu ne munne ategerekeseeko erya Kayiira baasooka kukwatibwa ng’omwana yakabula, wabula oluvannyuma nebateebwa ku kakalu ka police.
Ssempa yabadde agenze ewa musawo munne amugange n’okusiba omusango wabula n’amutegeeza nti taggya kugusobola, kwekubira police ezze nekwata Ssempa nga taneyongerayo.
Mu kiseera kino omulambo gw’omwana eyasadaakiddwa police eguwadde ab’oluganda, era aziikiddwa ku kyalo Kisamba e Lwabenge.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru ne Ssalongo Tomusange Kayinja