Abatuuze ku kyalo Bituuju mu Gombolola ye Kasokwe district ye Kaliro baliko abavubuka babiri bebazingizza n’ente eteeberezebwa okuba enzibe, babakubye emiggo egobasse nebabatemako n’emitwe.
Abatuuze bano abakaawu, bagambye nti bakooye ababbi ababasuza kutebuukye.
Omuduumizi wa Police e Kaliro ASP Nathan Male agambye nti abattiddwa tebanategerekeka mannya gagwe, babadde batambulira ku ppikipiki Bajaj Boxer namba UFN 693D.
Wabula afande Male avumiridde eky’abatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo.
Police emirambo egigyewo n’egitwala mu ggwanika nga bweyigga abatwalidde amateeka mu ngalo.
Bisakiddwa: Kirabira Fred