Abantu baabuligyo 6 bazuuliddwa nga battiddwa mu bukambwe ba mukwata mundu ababbi b’ente mu Kalamoja, wakati w’ennaku z’omwezi 30 September,2023 ne nga 6 October, 2023.
Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okubatta baakuuliita n’Ensolo 160 omuli Ente,Embuzi n’Endogoyi.
Alipoota ya UPDF eraze nti mu kikwekweeto Usaalaama kwa Woote ekigenda mu maaso e Karamoja ,abalumbaganyi 39 bakwatiddwa era nebagibwako emmundu 5 n’Amasasi 39.
Maj. Moses Amuya akolanga omwogezi w’ekibinja Kya UPDF ekyokusatu mu Karamoja, agambye nti okuva ebikwekweto lwebyatandika okuyinda, amaanyi bagazzizza mu kunyweeza ebyokwerinda ku nsalo za Uganda, Kenya ne South Sudan awateeberezebwa okuva abakwata mmundu abo.
Bisakiddwa: Kato Denis