Abasajja abambuti bannyonyodde nti bwekituuka ku nsonga z`omukwano n’okufuna ababeezi babonabona nnyo, kubanga abakyala abatali bambuti babasosola, ate bwebafunayo ababakkiriza nti babeera babagalako byabugagga bwabwe nga anabamu okubakkiriza basooka kubakozesa ndagaano nti ng’eby`obugagga bebabirinako obuyiinza.
Ate bbo abakyala Abambuti bagamba nti ensonga z`omukwano zibasumbuwa nnyo, abasajja bangi babaagalira mu nkukutu, nti naabalala babagala kubeeyambululiramu bizibu byabwe, abalala babafubyisa embuto nebabaddukako tebaddamu kubalabako.
Abakyala abambuti bagamba nti bwebafuna embuto nebagenda mu malwaliro basosolebwa ebitagambika, saako abasajja ababasanga mu makubo nebabawerekereza ebigambo nti nga bababuuza ekibekaniikirisiza ku basajja.
Minister omubeezi avunaanyizibwa ku bantu abaliko obulemu Hellen Asamo ategeezezza nti azze afuna okwemulugunya ku bantu abaliko obulemu olw’okusosolebwa, era nti bweguli ne ku bambuti, abamutegeeza nti bakooye okuyisibwamu amaaso n`okusosolebwa.
Minister Hellen Asamo agamba nti yafaunako n’okwemulunya, nti abasawo mu malwaliro abantu bano abampi bwebagendayo babakuba eddagala ly’abaana abato olwekikula kyabwe, ate abalala nebabakuba Over doze nga balowooza nti emibiri gyabwe girwawo okuwulira edaggala.
Hellen Asamo ayongerako nti ne ku masomero abantu banno basosolebwa, ate nga ne mu bifo ebimu batebasobola okufuna buweereza busaanidde, omuli ku masomero okuli entebe empanvu (Desks) zebatasobola kutuulako bulungi nga bawandiika, tebasobola kusoma biri ku mbaawo, ku notice board, nebintu ebirala ebisobola okukozesebwa abantu abawanvu.
Ebibalo by’ekitongole ekikola ku bibalo mu ggwanga ki Uganda National Bureau of Statistics ebya 2024, biraga nti Abambuti abali waggulu w’emyaka 18 bali emitwalo 194,271, nga kubano abakyala Bali 105,169, ate abasajja emitwalo 89,102.