Makerere University wamu ne Universities endala zisabiddwa okwetaba obutereevu mu kulwanirira n’okulambika ku nsonga z’ eddembe ly’obuntu mu ggwanga okusinga okuzirekera bannabyabufuzi n’ebitongole byanakyeewa
Bino bibadde mu kutongoza alipoota eyokuna ey’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso district eya 2023, ku mukolo ogubadde ku Makerere University School of Vetenary Medicine.
Alipoota y’omulundi guno ebadde ku mulamwa ogw’okwongera amaanyi mu ddembe ly’bulamu , obuweereza mu bantu wamu n’eddembe ly’okufuna emmere.
Ssentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika agamba nti ebimu kubiviiriddeko eggwanga okubeera mu bizibu ebitaggwa gemattendekero nga Makerere University okutandika okwesamba ensonga ezikwata kubulamu bwantu .
Principal wa Makerere school of Vetenary Medicine prof Mwiine Frank ategeezezza kati bwebagenda okufuba okulaba nga ssetendekero wa Makerere yenyigira butereevu kukulambika ku nsonga ezinyigiriza omuntu wabulijjo, naddala okulwanirira obutonde bwensi nga wano bakutuukira ddala kubuli muntu avunanyizibwa.
Bonabye Kamaadi director avunanyizibwa ku nsonga z’okunonyereza mu kitongole kya Uganda Human Rights Commission ategezezza nti ekitongole kino kyamalirizza okukwatagana ne minisitule ya government ez’ebitundu okulaba nga district zonna zitekesa mu nkola obukiiko obuvunayizibwa ku ddembe ly’obuntu nga district ye Wakiso bwekola.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye agamba nti alipoota y’omulundi guno essira balitadde nnyo kubyobulamu kubanga bakizudde nti amalwaliro agasinga gali mu mbeera mb.
Agambye nti waliwo nagamu ku malwaliro gebasanze nga gaazimbibwa nga tegaliko bifo byanguyizaako abantu abaliko obulemu okufuna obuweereza obulungi.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo