President wa Uganda Gen Youweri Kaguta Museven, alagidde ba Minister okulondoola emirimu gyabwe nga bakkira ddala wansi mu bantu, okumanya enteekateeka za government engeri gyeziddukanyizibwamu.
Minister avunaanyizibwa ku nsonga z`Obwa President Milly Babirye Babalanda, ategezezza nti ba Minister bagenda kutandika okutalaaga eggwanga lyonna mu bwangu ddala, era nawabula abakozi ba government ku mutendera gwa district okuteekateekateeka alipoota ezabula buli mwezi l, ku ngeri emirimu gyegiddukanyizibwamu.
Abalondola emirimu gya government mu buli district nabo basabiddwa okuteekateeka alipoota ezikwata ku buli bw’enguzi obuli mu bitundu byabwe, wamu n’emirimu egikolebwa mu ngeri yagadibe ngalye.
Milly Babirye Babalanda ategezeeza nti ba Minister bwebamaliriiza okulambula program za government, ate president yabalagiidde okukomyawo enkola ya bbalaaza, abantu mwebagenda okuyita okukubaganya ebirowoozo byabwe ku nsonga ezibaluma, wamu nabantu benyini okulonkoma project za government ezitakwatiddwa bulungi.
Bisakiddwa: Musisi John













