Eyali Loodi Mayor wa Kampala era president wa PFF Ssalongo Erias Lukwago asindikiddwa mu kkooti enkulu, awerennembe n’omusango gw’okusirikira amawulire agokulya mu nsi olukwe.
Omulanuzi Sarah Basemera owa kooti ento e Makindye, yaaasindise Lukwako mu Kooti enkulu, oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti okunoonyereza ku musango kuwedde.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Judith Nyamwiza ategeezezza, nti obujulizi bwebafunye bulaga nti wakati w’omwaka 2021 ne 2024, munnamateeka Erias Lukwago ne banne abalala baamanyaako ku lukwe lw’okuwaamba government ya Uganda, wabula nebasirika.
Erias Lukwago y’abadde munnamateeka omukulu mu misango egyaggulibwa ku munnaPFF Rtd.Col.Dr.Kiiza Besigye ne munne Obed Lutale abawerennemba n’emisango gy’okuluka olukwe lw’okuwamba goverment wakati wa 2021 ne 2024, era nti batuzaanga enkiiko zabwe mu kibuga Nairobi ekya Kenya ne Greece.













