Kooti e Butambala eyimbude eyaliko omubaka wa parliament owa Butambala era amyuka omukulembeze w’ekibiina kya NUP mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi ku kakalu ka kooti ka bukadde bwa shs 10 ezoobuliwo ne bane abalala bataano.
Muwanga kivumbi yakwatibwa nga 22 January,2026 nga akalulu ka bonna kakakomekerezebwa.
Yaggulwako emisango gy’obutujju n’okusekeeterera government, n’emirala egyekuusa ku ttemu omwafiira abantu mu bitundu bye Butambala mu nnaku z’okulonda.
Muwanga Kibumbi agenze okuyimbulwa ng’emyezi jikunukkiriza okuwera omukaaga nga ali mu komera,wabula wafulumide ekomera nga abamu kubaali bamuwolererza nga Erias Lukwago ate naye kati ali mu nkomyo.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya agambye nti ng’ekibiina basanyufu nti omu kubakulembeze babwe ayiimbuddwa, kati bakyayagala n’abalala abakwatibwa olw’ebyobufuzi nabo bayimbulwe.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif













