Uganda ewangudde empaka za Cecafa U17 Women’s Championship ez’omwaka guno 2026 oluvanyuma lw’okumegga Tanzania goolo 3-0.
Empaka zino zibadde ziyindira mu kibuga Dar-al-Salaam e Tanzania, era Uganda ewangudde empaka zino nga teteebeddwamu goolo yonna.
Goolo eziwadde Uganda obuwanguzi ziteebeddwa Justin Ayerango, Brenda Nassaka ne Flavia Yagala.
Uganda ekikopo ekyeddiza, nga yebadde yasemba okukiwangula mu mpaka eza 2019 ezaali mu Uganda.
Uganda yaggulawo empaka z’omwaka guno n’okukuba Djibouti goolo 13-0, n’ekuba Zanzibar goolo 3-0, yakuba South Sudan goolo 4-0, ate ku semifinal yakuba Kenya goolo 3-0, ne ku fayinolo ekubye Tanzania ku 3-0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












