Abantu babiri abagambibwa okutta muwala w’eyali Katikkiro wa Buganda Eng. John Baptist Walusimbi Omugenzi Lydia Babirye Ssengendo basindikiddwa ku alimmanda, oluvanyuma lw’okusomerwa emisango 3, okuli ogw’okuwamba , okubba n’okutta omuntu.
Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Peninnah Joy Nakaweesa lutegeezeza kkooti, nti abalumirizibwa mu misango gino kuliko Shaffic Kagga owemyaka 26 nga muvuzi wa boda boda era nga mutuuze we Naakuwadde Bulenga mu Wakiso, ne munne Abubakar Ntege owemyaka 32 nga omulimu gwe gwakwookya byuuma era nga mutuuze we Kiteredde muTown Council ye Kakiri mu District ye Wakiso.
Emisango gino baagizza wakati w’ennaku z’omwezi nga 3 ne 4 June,2026. nga basinziira ku kyalo Kiteredde mu Town Council y’e Kakiri mu District ye Wakiso.
Bavunaaniddwa mu Kkooti e Wakiso ebadde ekubirizibwa omulamuzi Naume Sikhoya, era nga basomeddwa emisango essatu okubadde ogw’okuwamba omugenzi Lydia Babirye Ssengendo owÉmyaka 52, eyali omutuuze we Ntinda Kigoowa mu Kampala.
Kigambibwa nti nga tebanamutta, baasooka kukanda family y’omugenzi obukadde bwa shs 19, kyokka eadde babawaako obukadde omunaana (8) baasalawo nebamutta.
Bano era bavunaniddwa okubba ssimu z’omugenzi bbiri okwali eye kika Samsung , entono ey’Amapeesa ,line zaamwo bbiri, kaadi za Bank bbiri n’Endagamuntu.
Olwokuba emisango ogibavunanibwa gya Nnagomola era nga giwulirwa kkooti nkulu yokka, omulamuzi Sikhoya abagaanye okubaako kyeboogera kyokka, naabategeeza nti baddembe okusaba okweyimirirwa kyokka nga kino basobola kukikola nga bayita mu kkooti enkulu.
Omuwaabi wa government ategezezza nti okunonyereza ku misango gino kukyagenda mu maaso, bwatyo omulamuzi nabasindika ku alimanda mu kkomera okutuuka nga 8 July,2026, jjebanagyibwa bakomezebwewo mu kkooti yeemu okwongera okuwerennemba n’emisango egibavunaanibwa.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe Mulyabyuma












