Government ya United States of America etadde envumbo ku bantu bonna abava mu Uganda ne democratic Republic of Congo ne South Sudan olw’ekirwadde kya Ebola.
Ekiwandiiko ekivudde mu government ya America okuyita mu ministry yaayo ey’ensonga zamawanga amalala eya Department Of State, America egambye nti abagwira bonna naddala abatali batuuze ba America nga babaddeko mu mawanga gano asatu mu nnaku 21 eziyise, tebakkirizibwa kulinnya kigere ku ttaka lya America.
Mu bukwakulizo buno, government ya America yakwekebejja nnyo buli muntu ayingira America okuva mu mawanga ago.
America era emyumyudde ensalo zaayo okuli ebisaawe by’ennyonyi n’emyaalo, nga abasaabaze bonna bakusooka kwekebejjebwa nga tebanakkirizibwa kuyingira America.
Mu kwaηηanga ekirwadde kino, government ya America ewadde Uganda ne DRC obukadde bwa Dollar za America 13, bwe buwumbi bwa Uganda 48 okuzikwasizaako okulwanyisa ekirwadde.
Ensimbi zino zakuyambako ebitongole by’amawanga gano ebikwatibwako eby’obulamu okuwanirira laboratory ezikola eby’okunonyereza ku Ebola, okuwa amawulire agobuliwo agakwata ku kirwadde.
Ensimbi zino era zakukwasizaako mu byokuziika abafudde ekirwadde kino, okwekebejja abantu abasuubirwa nti babaddeko n’abantu abalina ekirwadde kino, saako okwekebajja abantu abayingira naabafuluma amawanga ago wamu n’okuvujjirira obukiiko bw’amawanga gano obulondoola ekirwadde.
Ensimbi zino government ya America eziwadde amawanga gano okuyita mu ndagaano gyeyakola nago, ekwata ku byobulamu emanyiddwa nga America First Global Health Strategy, amawanga gano mwegagabanyizaako government ya America, amawulire agakwata ku byobulamu bwabannansi baago.
Ebibalo by’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu munda mu DRC biraga nti abantu 118 bebaakattibwa Ebola mu bbanga lya wiiki 2 lwekyabalukawo, songa abakunukkiriza mu 400 bali ku ndiri.
Akawuka kano aka Ebola, ekitongole ki World Health Organisation kyakatuuma Bundibugyo Virus nga kigambibwa nti kasaasaana ku misinde miyitirivu okusinga ku bulala obubaddewo, era kabulabe nnyo.
Amawulire okuva e DR Congo galaga nti akasattira kamaanyi nnyo, oluvannyuma lw’omusawo munnansi wa America abadde akolera mu kitongole kya Center for Disease Control okukwatibwa ekirwadde kino, era yoomu kubali kundiri.
Kitegeezeddwa nti esaawa yonna, omumerica ono atayatuukiriddwa bimukwaatako agenda kuttikibwa ku nnyonyi atwalibwe e Bugirimaanyi gyaaba ajjanjabirwa.
Okusinziira ku World Health Organisation, waliwo abasawo abalala mu kitongole kino ki Center for Disease Control munda mu DR Congo bebakyetegereza ku bigambibwa nti nabo akawuka kandiba nga kaabayodde.
Mu Uganda omu omu yeyakakasibwa nti yafudde Ebola mu bbanga kya wiiki emu eyise, ng’ono yabadde yakava mu DRC.
Government ya Ugabda yayimiriza emikolo gy’okukuza olunaku lw’abajjulizi e Namugongo okubadde lugenda okubaawo nga 03 June, ng’emu ku ngeri yookutangira okusaasaana kw’ekirwadde kino.#












