Olukiiko oluddukanya empaka z’ebika bya Baganda lukakasiza nti emipiira ku mutendera gwa ttiimu 16 gigenda kuzannyibwa nga 24 May, so ssi nga 22 omwezi guno nga bwe baali balaze mu kusooka.
Bino bikakasiddwa mu lukiiko olwawamu olwetabidwamu abakulembeze ba ttiimu z’ebika zonna n’akakiiko akateesiteesi, olutudde mu Bulange e Mengo, lubadde lukubirizibwa akulira eby’ekikugu Kabugo Mansoor.
Emipiira ku mitendera gyonna okuli ogwa ttiimu 16, quaterfinal ne semifinal, tewali kuddiηηana.
Quaterfinal ejja kuzannyibwa nga 27 May, semifinal nga 31 omwezi guno, olwo final ebeerewo nga 06 omwezi ogujja ogw’omukaaga mu kisaawe e Wankulukuku.
Ku mutendera gwa ttiimu 16, bannantameggwa b’empaka ezasembayo abe Ngabi Ensamba bagenda kwambalagana ne Nnyonyi Nakinsige, Endiga egenda kuttunka ne Nkima, Ensenene egenda kuzannya ne Akasimba.
Ekkobe ligenda kuzuzumba ne Njovu, Engabi Ennyange ne Mbwa, e Mamba Kakoboza egenda kwambalagana ne Mamba Namakaka, Omutima Omusagi gugenda kuzuzumba ne Mbogo ate nga e Ngo egenda kuttunka ne Ffumbe.
Mungeri yeemu olukiiko lukakasizza nti emipiira egy’okubaka omutendera gwa quaterfinal ne semifinal gigenda kuzannyibwa nga 31 omwezi guno ogwa May,2026.
Ennyonyi Ennyange be bannantameggwa b’empaka ez’omupiira ogw’okubaka omwaka ogwayita 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












