Ttiimu y’essaza Mawokota ezeemu okulonda Richard Malinga ng’omutendesi waayo omuggya, nga betegekera empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2026.
Richard Malinga ku mulimu gw’okutendeka Mawokota akomyewo mulundi gwakubiri, nga yasooka okugitendeka okuva mu 2020 okutuuka mu 2023.
Richard Malinga era mu kiseera kino ye mutendesi ow’essomero lya Amus College, ate nga omwaka 2025 yayambyeko Buddo SS okuwangula empaka za National Boys Football Championships ezaali e Ngora.
Mawokota era yakakasa Ronald Kavuma nga ssentebe wa ttiimu, ate Hon John Bosco Lubyayi Sseguya ku bwa ttiimu manager.
Mawokota omwaka ogwayise 2025 yawandukira ku mutendera gwa quaterfinal.
Erwana okuwangula ekikopo kya Masaza omulundi ogw’okuna, yasooka kukiwangula mu 2005, 2007 ne 2013.
Empaka za Masaza ga Buganda ez’omwaka guno 2026 zitandika nga 13 June.
Mawokota emipiira gyayo egenda kugikyaliza mu kisaawe kye ssaza e Buwama.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











