Alipoota y’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB ebya s.6 (UACE) ebyakolebwa 2025, eraze nti kubayizi emitwalo 16 5,172 abaabituula, abayizi emitwalo 68,906 byebitundu 42% baabiyise ne Principal Pass 3.
Abafunye principal pass 3 beeyongerako okuva ku bayizi emitwalo 5 4,338 by’eitundu 39% abayitira mu ddaala lyerimu omwaka ogwayita 2024.
Alipoota eraze nti abayizi abasoma amasomo ga science beeyongedde obungi n’omuwendo kwebayitira nagwo ne gweyongerako naddala mu myaka 5 ejiyise ku mutendera gwa S.6.
Abayizi basinze kujjumbira ssomo ly’okubala ng’abeewandiisa okukukola bali emitwalo 70,132 okuva ku mitwalo 3 nekitundu emyaka 5 ejiyise.
Abasoma Chemistry kati bali emitwalo 21,302 okuva ku mutwalo 17,349.
Abakola Biology batuuse ku mitwalo 3 5,660 okuva ku mutwalo 15,058.
Abayizi mu masomo ga Science tebajjumbira nnyo ssomo lya Physics era mu myaka etaano beyongerako kitono nnyo okuva ku mutwalo 13,473 okutuuka ku 21,302.
Ssenkulu wa UNEB Dan Odongo, agambye nti abayizi abawala abajjumbira amasomo ga science, beeyongeddeko wadde bakyali batono nnyo, bwogerageranya ne bannaabwe abalenzi.
Abayizi abakola okubala bali emitwalo 7, abawala bali emitwalo 2 neekitundu bokka.
Agambye nti abayizi bakyasoomozebwa nnyo mu kunyonyoka ebibuuzo ebibabuuzibwa era kyaviiriddeko bangi obutafuna bubonero bulungi.
Abayizi ebitundu 99% baayise ebibuuzo, nga kubano emitwalo 68,906 by’ebitundu 42% baayise ne Principal Pass 3.
Emitwalo 4 ,385 byebitundu 27% baayise ne Principal Pass bbiri.
Abayizi 31,838 byebitundu 19% baayise ne Principal Pass emu, sso nga abayizi 18,152 byebitundu 11% baayise ne Subsidiary Pass.
Abayizi 1,891 kyekitundu 1% ebibuuzo tebabiyise era bakubiriziddwa okuddamu okubituula.
Abayizi emitwalo 113,291 byebitundu 69% balina obusobozi okwegatta ku ssetendekero zonna mu Uganda, olw’ensonga nti balina Principal Pass wakiri bbiri ezeetagibwa okusoma University.
Abayizi emitwalo 14 5,129 byebitundu 88%, balina obusobozi okugenda mu matendekero ageemikono olwokuba balina Principal Pass ne Subsidiary Pass ngeteeka lya TVET bweriragira.
Bwabadde afulumya ebyavudde mu bibuuzo bino mu maka g’obwa president e Nakasero, Minister w’ebyenjigiriza n’emizanyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, Janet Kataaha Museveni, asabye abazadde okwongera okwenyigira mu byenjigiriza by’abayizi baabwe nokubakwasizaako mu byetaago.
Agambye nti government etandise ne ku nnongosereza ezoomugundu mu bisomesebwa abayizi ku mutendera gwa S.6, oluvanyuma lwokukizuula nti abayizi banguyirwa mu nsomesa empya.
Bino by’ebibuuzo ebisembyeyo mu curriculum enkadde era abayizi abagenda okutuula ebyomwaka guno 2026 baakutuulira mu curriculum empya emanyiddwa nga Competence Based Curriculum.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











