Radio ya CBS FM mu butongole esse omukago n’ekitongole kya government ekivunaanyizibwa kukuba ebiwandiiko ebitongole, ekya Uganda Printing and Publishing Corporation.
Bakukolagana wamu okutuusa obuweereza mu ngeri ennyangu ku bantu ba Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.
Omukago guno gutunuuliddwa ng’ekimu ku bibala bya CBS amangu ddala nga kyejje eddizibwe license yaayo gyemaze emyaka 14 nga terina.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe y’atadde omukono ku ndagaano eno ku lwa Radio ya Kabaka, ate Mwami Joachim Buwembo ssentebe wa UPPC n’assaako ku lw’ekitongole ekyo.
Emikono giteereddwako mu Bulange e Mmengo mu maaso g’omumyuka awookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owe. Robert Waggwa Nsibirwa.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayozaayozezza CBS olw’okuddizibwa license yaayo, era neyeebaza abakulu mu UCC abaakoze omulimu guno, kyagambye nti kino kigguddewo emikisa nkumu eri Radio ya Kabaka era kigenda kigiyamba okwegazaanyiza obulungi mu kisaawe ky’ebyempuliziganya.
Yeebazizza nnyo aba UPPC okulondawo okukolagana ne CBS kubanga ye Radio esinga okuwulirizibwa era eyeesigika mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu.
Abakuutidde okukwatagana obulungi bakozese buli mukisa CBS gwerina oguleeta abantu awamu nabo okubasomesa ebikwata ku kitongole kyabwe.
Agambye nti CBS tekoma ku mawulire gokka, wabula erina n’engeri endala nkumu zeekozesa okutuusa obubaka ku bantu mu mbeera esaanidde ate eyeesigika.
Owek. Nsibirwa agambye nti Buganda ekungaanyizibwamu omusolo ebitundu 70% ekitegeeza nti n’akatale weekali kale nga kya nsonga nnyo okukolagana n’ebitongole bya Buganda kubanga birina abantu.
Ku lwa Buganda, Owek. Nsibirwa asuubizza okuwagira omukago guno mu mbeera zonna.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti bagenda kukozesa omukago guno okumanyisa banna Uganda ebingi ebikolebwa mu Uganda Printing and Publishing Corporation kubanga bannansi bangi tebabimanyi.
Mu mbeera yeemu Omuk. Kawooya akoowodde ebitongole ebirala okuva mu government eyaawakati n’ebweru w’eggwanga okweyuna CBS batambulire wamu naddala kati nga terina kakwakkulizo konna kagiremesa kukolagana na kitongole kyonna, ekibadde ekizibu ennyo nga terina license.
Agambye nti mu kiseera radio wetabeeredde na license esubiddwa business nnyingi okuva mu kampuni n’ebitongole ebitali bimu.
Kawooya agumizza aba UPPC nti tebasaana kubuusabuusa mu nkolagana eno, nti kubanga eggumidde bulungi, era yakutambuzibwa butereevu ku Radio ez’okumpewo okuli 88.8 ne 89.2 ate wamu n’emikutu gyayo egy’omutimbagano.
Ssentebe wa UPPC Joachim Buwembo agambye nti balina essuubi ddene nnyo okuganyulwa mu nkolagana eno kubanga bonna baweereza abantu bebamu.
Agambye nti era omukago guno tegulina kkomo, nga gwakuyamba nnyo mu nteekateeka y’okwanguyizaako bannansi okutegeera ebiwandiiko bya government ebitongole, kubanga baakubitaputa mu nnimi ezitegeerwa bannansi oluvannyuma lw’okukizuula nti Olungereza bangi tebalutegeera bulungi.
Awanjagidde banna Uganda okufaayo ennyo okuwandiisa ebintu byabwe byonna bikakasibwe mu mateeka era bifulumizibwe mu Kyapa kya government ekitongole Gazette.
Ategeezazza nti ekyabalonzaawo okukolagana ne CBS, bakizuula nti yeesigika mu bantu bonna era buli kyekwatako tekidda mabega.
Omukolo guno gwetabyeko Owek. Noah Kiyimba minister w’Olukiiko, Kabineti, Abagenyi n’emirimu egy’enkiizo mu Office ya Katikkiro ng’ono abaddewo ku lwa minister w’Amawulire Owek. Israel Kazibwe, akulira eby’amateeka mu CBS Vivian Namale, akulira eby’ensimbi Christopher Bajjabayira, akulira bakitunzi Samson Nyatia ate n’abalala abawerekedde ku ssentebe wa UPPC.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K