Mu Ntanda ya Buganda eya.nga 09 November,2023, abamegganyi; Kabuuka Jamir eyafunye obugoba 21 ne Nanteza Grace eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako mu program Entanda ya Buganda, ate Ssozi Nasur eyafunye obugoba 13 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda.
1. Olugero: Omukulu abulwa ewuwe – tabaamu kitiibwa
2. Abavubi balina ekigambo Lugembya, kitegeeza ki? – Amasavu g’emmamba.
3. Ekitongole ky’amasannyalaze ekiyitibwa UEB kyatandika mwaka ki? – 1948
4. Nnamasole Muganzirwazza yaziikwa mu ssanduuuke, ani yagibajja? – Omuzungu omwawule Alexander Makaayi.
5. Okuba n’enziro ku mutima, kisoko kitegeeza ki? –
Okuba n’ettima
6. Ani musasi wa CBS okuva e Kalungu mu Buddu? – Nsubuga Muzafaru
7. Tereeza ssentensi mu Luganda, Mmanyisa ensonga enkulu ekuleese – Mmanyisa ensonga ekuleese
8. Eminyololo gy’ebijanjaalo egifumbibwa negiriibwa n’ebikuta byagyo giweebwa linnya ki? – Enkagga
9. Olugero: Ewava omukozi – tewava mutango
10. Ekikolwa ky’abavubi okumala okutega nebasulirayo ddala kiweebwa linnya ki? – Okusula bbooda
11. Tuwe omwaka essimu y’okummeeza mweyatandikira okwogererwako mu Buganda? – 1913
12. Tuwe amannya g’abazungu ababiri abaaziika Nnamasole Muganzirwazza – Alexander Makaayi ne Mapeera
13. Ekisoko okuba nga Tolima kambugu n’omuntu – Obutabaawo nankolagana na muntu
14. Munnamawulire wa CBS agasakira e Buweekula yaani? – Ssebuufu Baanabakintu Kironde
15. Tereeza ssentensi mu Luganda olutuufu, Ono muliraanwa waffe – Ono muliraanwa waffe
16. Ekikolwa ky’empeke z’ebijanjaalo okutandika okukyusa langi, kiweebwa linnya ki? – Okusala amaaso
17. Olugero: Omwenge mabinu – Atannagunywako tabinuka
18. Abavubi balina ekigambo okuyitako kitegeeza ki? – Ekikolwa ky’abavubi okuteekayo obutimba nebadda eka
19. Ekyuma ekikola ssukaali kyatandikibwa ddi e Lugazi? – 1924
20. Nnamasole Muganzirwazza yafa mu mwaka ki? – 1882
21. Ani asakira CBS e Butambala – Patrick Sserugo
22. Mmwe ababadde bayimba, kitereeze – Mmwe mwabadde muyimba
23. Ekikolwa ky’ebijanjaalo okutandika okussa kiweebwa linnya ki? – Okuttulula
24. Obutabeeramu luyingo kisoko, kitegeeza ki? – Butabaamu maanyi
25. Amyuka omuleezi w’engoma mujaguzo aweebwa linnya ki? – Omutaka Katula
26. Okutega mu kyole kisoko, kitegeeza ki? – Okukola ekintu kyogenda okufunamu ennyo
27. Olugero: Asiba mu mbuzi omuguwa – Gwebabanja
28. Tuweeyo ensonga bbiri ezigaanyisa omulimi okusala ku mbidde empumumpu – Ekitooke ekisajja tekisalwako mpumumpu, n’ okukyawula ku birala
29. Mu mannya g’abamasaza mulimu alina erinnya eritegeeza Omwami eyetwala, yaani? – Ppookino
30. Omutaka akuuma engalabi Ttimba aba wakika ki? – Butiko
31. Obuti okusula enkoko mu nju yaazo, bulina erinnya buyitibwa butya? – Oluwe/Empe.
32. Olugero: Nnaakikubye – Tatuuka ku nsonga
33. Omuganda kiki kyayita empawulo? – Essonko omuvudde ekkovu
34. Omwana w’omulyazaamaanya tagwa nganzi, enganzi kyeki? – Ennyonta eva ku bukoowu
35. Abaganda bawanuuza nti omuti gwebayita omusa, mukazi, lwaki? – Kubanga gubaako ebintu ebiringa amabeere
36. Omunga enkejje ez’ennono z’akozesa okwalula abaana azijja mu ssaza ki? – Ssese
37. Mu lulimi oludda ku nsolo z’omunsiko mulimu ekigambo ekikunsu, kitegeeza ki? – Embizzi ento
38. Lwaki essubi kyabuwangwa kya Baganda? – Lisereka ennyumba n’okusogozesebwa omwenge
39. Engango y’engabo eweebwa linnya ki? – Omuwambiro
40. Abaganda bawanuuza ku munya nga gugwiridde omuntu ku mutwe, gawanuuza ki? – Nti guba gumwambuluddeko byonna
41. Ba Kabaka ba Buganda babiri abaava ku Nnamulondo ate nebagiddako? – Kabaka Kiggala ne Mwanga II
42. Olugero: Eryomunaku – Tekimumalaawo
43. Omuliro gwa Buganda bweguzikira, Kimbugwe ne Kaggo bafunayo erinnya eribagatta, lyeririwa? – Ba Ssemwandu
44. Abalunda embwa balina gyebayita ensole, yeeba etya? – Akabwa akato akamalirizza okukuula amannyo
45. Essubi erisaliddwa nga lyakubikka lusuku liweebwa linnya ki? – Eggugu
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K