Mu program Entanda ya Buganda nga 08 November,2023 ku cbs 88.8 kaabadde kaasa-mmeeme kennyini, ng’abamegganyi bubefuka.
Gyebiggweredde nga Bogere Richard afunye obugoba 31 ne Kaggwa Charles n’afuna 20 era bombi nebasuumusibwa okugenda ku mutendera gw’olumeggana oguddako, Tumusiime Gerald yafunye 19 era n’awanduka.
Biibino ebibuuzo by’Entanda.
1. Olugero: Nakula sizannya – Ng’ayambadde lukadde
2. Abakomazi balina ekigambo, konkoote, kitegeeza ki? – Ku ngulu kw’olubugo
3. Kabaka Muteesa II yalondebwa mu mwaka ki nga president wa Uganda? – 1963
4. Tuwe essaza Kabaka Ssuuna II mweyakisiza omukono – Buddu
5. Amakulu g’ekisoko, Okuzambalira ku mugongo – Okukola ekintu mu bwangu
6. Ani yawandiika ekitabo Twejjukanye Oluganda? – Prof. Nsereko Ntanda
7. Tereeza Sentensi eno. Mwannyina wange omulabyeko? – Mwannyinaze omulabyeko?
8. Tuwe emigaso ebiri egy’eddiba ly’embuzi egy’ennono – Likolwamu ekisenso ekizinisibwa n’okutwalibwa mu ssabo
9. Olugero: Omugenyi alwa – Y’asamba omwenge
10. Abakomazi balina ekigambo bwenyi, kitegeeza ki? – Ye nkata essibwa ku ddaala obutakosa mutuba oguyimbulwa
11. Ssemateeka eyasanyaawo Obwakaba n’obufuzi obulala bwonna obw’ensikirano, yakolebwa mu mwaka ki? – 1967
12. Kabaka Ssuuna yalina omukulembeze w’ensi gweyali agenze okutabaala yaani? – Kataba
13. Okuba nga byosiba bikutuka kitegeeza ki? – Okuba omuyi ennyo
14. Ani yawandiika ekitabo Nnasobola Ekitasoboka – Waalabyeki Magoba
15. Tereeza Sentensi, Bbaawo mundabire – Balo mundabire
16. Tuwe amakulu g’ebigambo ng’ekyokuddamu okyesigamizza ku ddiba, Ekkope n’oluveera – Ekkope ly’eddiba eritali kkunye, oluveera ly’eddiba ekkunye
17. Olugero: Amala okufuna – Nti oluggya lukala mbuzi
18. Oyawula otya olubugo olutwalibwa mu kibi n’olutwalibwa mu birala – Olutwalibwa mu kibi telusibwako ate olulala lusibwako olulagala
19. Okulonda okwebyobufuzi okwasookera ddala mu Uganda kwaliwo ddi? – 1961
20. Olutabaalo Kabaka Ssuuna mweyakisiza omukono lwatuumwa linnya ki? – Ddekabusa
21. Okukuba omuntu akatabo, kisoko, kitegeeza ki? – Okulimbalimba omuntu
22. Ani yawandiika ekitabo Awo Olwatuuka? – Ddamba Andrew
23. Tereeza ssentensi, Yagenze mu ddwaliro okubeera ng’ajjanjabwa? – Yagenze mu ddwaliro okujjanjabibwa
24. Omuleezi w’eddiba ly’embuzi yeetaaga ki? – Emmambo n’akambe
25. Olugero: Agafuma bagabejjereza taba – Nti ani yalaba nnabangogoma ng’anywa emmindi
26. Tuweeyo ebigambo bibiri ebiyinza okutegeeza ewafudde omuntu – Okusula ku ssessiriiza oba okusula mu kibi
27. Ebemba tekyala, ekolaki? – Etabaala
28. Enku ez’ebiduli ebinene Omuganda yaziwa linnya ki? – Ebisiki
29. Embuga ya Kojja wa Kabaka omukulu eweebwa linnya ki? – Buganziganzi
30. Akanyonyi ka Nnamunye abaganda baakawa ekitiibwa kinene, kitiibwa ki? – Katikkiro wa Katonda
31. Ku ssaawa ttaano okutuuka ku ssaawa mukaaga ez’ettumbi, ku cbs kubaako Program, Programu ki? – Agakutte Omubabiro
32. Omuganda omuntu gwayita Nnankataggwa, yaaba atya? – Ye muntu omukulu akola ebitamugyamu
33. Tuwe amakulu ga mirundi esatu eg’ekigambo Amasiga – Agafumbwako, agali mu bika byaffe n’ekikula ky’omutwe
34. Olugero: Obudde okuziba – buliisa enkoko omuddo
35. Ebiti ebinyweza omukomagiro mu ttaka biweebwa linnya ki? – Embaali
36. Katikkiro wa Buganda ki eyasaba abazungu bawe Buganda amasannyalaze? – Michael Kawalya Kaggwa
37. Obwoya obubeera ku munwe gwa kasooli buweebwa linnya ki? – Obubooya
38. Empologoma eri ku kabonero ka Buganda etegeeza ki? – Kabaka
39. Ekiyiri kyeki? – Ekizike
40. Mu lulimi oludda ku balunnyanja, mulimu ekigambo Ekkulumusi, kyeki? – Ejjengo eddene
41. Olugero: Akulira mu nda ya nnyina – tabula kyamuggyako
42. Kizira okutwala olutagajjo ku buko, olutagajjo kyeki? – Ekita eky’omumwa omugazi
43. Ekipimo abakazi mwebapimira emmere y’amatooke empaate kiweebwa linnya ki? – Omuwumbo
44. Tuweeyo ebitonde bibiri ebikookolima – Enkoko n’ekitooke
45. Bwoba otambula mu kkubo n’olaba akapande okuli omwana akutte ebitabo otegeera ki? – Nti mu maaso awo waliwo abaana abasalirawo.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K