• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Enkerettanyi, bwogitega amenvu erya bibombo.

Eno ye Ntanda: Enkerettanyi, bwogitega amenvu erya bibombo.

October 27, 2023
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Enkerettanyi, bwogitega amenvu erya bibombo.

by Namubiru Juliet
October 27, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Enkerettanyi, bwogitega amenvu erya bibombo.
0
SHARES
111
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu program Entanda ya Buganda eya nga 26 October,2023 Balunginsiiti Steven eyafunye obugoba 29 ne Kabuuka Jamiru eyafunye obugoba 22 baayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Nannyondo Scovia eyafunye obugoba 9, yawanduse.

Bino bye bibuuzo ebyababuuziddwa;
1. Olugero: Eziruma munno tezikulobera kwebaka, enki? –  Enjoka.

2. Tuweeyo omuzizo gumu ku bintu ebireetebwa mu kibi? – Bwebiba byakulya tebyeyanzibwa.

3. Omunwe gwa lumonde ogwekweka munda eyo mulwaliiro guyitibwa enkukumu, tuweeyo omuzizo gumu ku nkukumu. – Lumonde oyo taweebwa mwami.

4. Tuwe amakulu g’ekisoko, okuba mu ly’e Bukeerere – Okubeera mu mirembe egiyitiridde.

5. Ani yawandiika ekitabo Kikonyogo? –  Kiwanuka Musisi

6. Kasooli aswankula atya? –  Bwateekako obunwe obubi ate nga bwamalibu.

7. President Obote bweyawambibwa yali mu nsi ki? –  Singapore.

8. Ekibumbe ekitannaba kkwokebwa kiyitibwa kitya? –  Omwali.

9. Ziribbulukukira mu mabidde, yeerabira enkenku. Ziba nki? – Nsimbi.

10. Tuweeyo omulimu gumu ogukolebwa omujjwa mu buwangwa bwa Abaganda –  Omujjwa y’akuma ogwoto.

11. Kwanaganya ekigambo kino Ensobyo n’okulima lumonde – Ke kati akakozesebwa okusima lumonde.

12. Amakulu g’ekisoko, eyevviivi okuba nga tekyasaka – Okukoowa ennyo nga n’enjala ekuluma.

13. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome ebiteesiba? – Thomas Kagera.

14. Waliwo kasooli gwebayita ow’amasimbi simbi, yaatya? –  Ye kasooli aba n’empeke mu langi ez’enjawulo.

15. Gavumenti ya Obote bweyawambibwa, yagenda mu buwanganguse, yagenda mu nsi ki? – Tanzania.

16. Omubumbi wa Kabaka omukulu yeddira Ngeye, yaani erinnya lye ery’ennono? –  Omutaka Sseddagala.

17. Olugero: Ezinunula omunaku, Katonda azitunga kiro. Enki? – Entembe.

18. Bwogenda awali abafiiriddwa obasaasira nti nga kitalo nnyo, tuweeyo engeri endala gyoyinza okubasaasiramu? –  Nti nga bizze bubi.

19. Abalimi ba lumonde balina ekigambo ekibwebwe, kitegeeza ki? – Lumonde awuttadde ennyo nga takyaliika.

20. Amakulu g’ekisoko, okukifuuwa ng’okizza mu nda. – Okukola ekintu ekyobulabe newejjusa.

21. Ani yawandiika ekitabo Gwolulambuza? –  Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu.

22. Ekikolwa kya kasooli okuteekako empeke obulungi ennyo kiyitibwa kitya? – Okuwanga.

23. President Obote okuwambibwa yali agenze mu lukiiko, lukiiko ki? – Common Wealth.

24. Tekikkirizibwa mukazi kubumba wano mu Buganda, kiki kyakkirizibwa okubumba? –  Emmindi.

25. Kasooli yeetuga atya? –  Omunwe okukoonoka neguva ku kikolo ne gugwa

26. Olugero: Bwolaba omuwuulu aliko entumbwe –  ng’asula mwajjajjaawe.

27. Ow’ennamataba kisoko, omutaka oyo yaani? – Omutaka Mulindwa.

28. Empagi ennene Omuganda gyassa wakati mu nju ye, agitema mu muti ki? – Musambya.

29. Kalikyejo ng’enjobe erya Obugala, Obugala bwebuki?  – Obutoogo obuto.

30. Tubuulire Katikkiro eyatuuma Kabaka we Ssemunywa? –  Kayiira.

31. Tuweeyo emigaso ebiri mu buwangwa bwa Buganda – Kituyamba okusibiramu emmere, era kituyamba okunoneramu emmere mu nnimiro.

32. Tuweeyo ebintu bibiri eby’ennono mwebakola olweyo lw’Omuganda olwera mu nnyumba – Mukonzikonzi n’akakakumirizi nekassibwamu kamu.

33. Tubuulireyo ebisoko bibiri ebitegeeza okulima omuddo ng’okozesa enkumbi –  Okuliisa goonya n’okusamba ennanda.

34. Olugero: Ewaakanyumiza –  tewaala nkoko waala mayuba.

35. Omutaka jjajja w’abeddira Enkejje erinnya lye ery’ennono. – Omutaka Kikwata.

36. Tuweeyo emigaso ebiri egy’omuti oguyitibwa omukebu mu nnono y’abaganda –  Gibajjibwamu eryato ly’okumazzi n’okukuuma obutonde bw’ensi.

37. Ekinu bwekyatika Omuganda akiyita atya? –  Akanyomo.

38. Ekisoko: okukuba omuntu akalali kitegeeza ki? – Okukola ekintu mu ngeri erumya abalala.

39. Ani akubira Kabaka empafu? – Omutaka Masiko.

40. Ekisoko ekintu okuba ekinnya n’empindi –  Ebintu okuliraanagana ennyo.

41. Omwenge oguyitibwa entiriiga gwegutya? –  Gwe mwenge ogwonooneka naye nga gwonooneka kuva mu lyato.

42. Amazaalibwa ga Kabaka gakuzibwa ddi? –  Nga 13 April.

43. Olugero: Enkerettanyi –  bwogitega amenvu erya bibombo.

44. Tuweeyo engeri bbiri Omuganda mweyayitanga okugunjula abaana –  Yakozesanga ekyoto mpozzi n’okubayisaako ow’e Mbuya (Okubaku kibooko)

45. Eddagala eriyitibwa omuggumiza liva ku muti ki?  Omuvule.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35
  • Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo
  • Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye
  • PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government
  • Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -