• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Ow’ensala mbi – Akwasa omwami mu nnyama

Eno ye Ntanda: Ow’ensala mbi – Akwasa omwami mu nnyama

October 13, 2023
Uganda Airlines mu butongole etandise engendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise engendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 18, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Ow’ensala mbi – Akwasa omwami mu nnyama

by Namubiru Juliet
October 13, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Ow’ensala mbi – Akwasa omwami mu nnyama
0
SHARES
184
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Entanda ya Buganda ebumbujjira ku CBS 88.8 okuva ku monday okutuuka ku Friday, ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro.

Mu program ebaddewo nga 12.10.2023 Abamegganyi; Bukenya Francis yafunye obugoba 26 ne Kalule Godfrey afunye obugoba 21 nebesogga olumeggana olwokubiri, ate Sseppuuya Moses afunye obugoba 16 awanduse.

Bino bye bibuuzo ebibuuziddwa:
1. Waliwo ekitonde abaganda kyebawanuuza, kitambula n’ekita naye nga tekisengejja, kitonde ki ekyo? – Ekkovi.

2. Mu mubala gw’abeddira ente mulimu ekisoko ekigamba nti Ekyuma nkiridde n’omukimba ngulidde, Omukimba kye ki? – Omusaala.

3. Tuweeyo emizizo ebiri egyekuusa ku kiggya ky’Omuganda ne Mukamwana – Mukamwana talima kijja kya ssezaalawe era taziikwako.

4. Ekisoko ekitegeeza okufa – Okugenda e Kaganga.

5. Ebintu bibiri Abaganda byebeeyambisanga nga ssente enzungu tezinnajja kuno – Baakozesanga ensimbi enganda, n’okuwanyisiganya ebyamaguzi.

6. Erinnya Kisodde, likwanaganye n’omulimu gw’okulima lumonde – Omusiri gwa lumonde omukadde.

7. Mukolo ki ogukolebwa mu mulimu gw’obuyizzi ogwoleka obwenkanya bw’Omuganda – Okugabana ennyama.

8. Ani yawandiika ekitabo Omumuli mu Ddungu? –  Emmanuel Kayondo.

9. Kwanaganya ekigambo “kkoonezi” n’omulimu gw’okutta enswa – Eriiso ly’enswa eribuukira ebweru w’omugala.

10. Mpa enjawulo mu nnyumba zino, Busitoowa ne Musooliini –  Ennyumba ya Musooliini y’eserekebwa ng’eyiwa oludda lumu ate Busitoowa eyiwa enjuyi bbiri.

11. Mpaayo amasaza ga Buganda asatu agakwata ku nnyanja Nnalubaale –  Buddu, Mawokota ne Busiro.

12. Essimu eyinza etya okwonoona abaana – Ssinga balabirako eby’obuseegu, n’okuyigirako okulimba.

13. Mpa emikolo ebiri Omuganda gy’akolera ku kitooke kya Nnakitembe – Kifugibwako omwana ow’okubiri (Omuwala) Bajjako emmero y’omukolo gw’okuzza omuzigo.

14. Olugero. Owensala mbi – Akwasa omwami mu nnyama.

15. Essomero ly’Omuzira mu Bazira wa 2007 liyitwa litya? – Cream side Junior School.

16. Ba katikkiro babiri ababadde ne Ddamula ku mulembe guno Omutebi nga bwebaddiringana –  Eng. JB Walusimbi ne Dan Muliika.

17. Abaana ab’olulira olumu be baliwa? – Abaana abazaalibwa nnyaabwe omu naye nga bakikula kimu

18. Emigaso ebiri egy’okulima ebiggya mu Buganda –  Kikuuma Oluganda n’okutujjukiza nti bali yadde baafa naye bakyali bantu baffe.

19. Obwakabaka bwatandiseewo kampuni esuubula emmwanyi yeriwa? – Mmwanyi Terimba LTD.

20. Erinnya ery’ennono ery’omwami ow’essaza akwasa omulangira alya engoma Engabo? –  Mukwenda

21. Mpa erinnya eriweebwa Omutaka akulira ab’eddira ekika ky’amazzi g’ekisasi –  Wooyo

22. Omwana ayonka ng’atakkuta aba alina bulwadde ki? – Akamiro

23. Mpaayo embeera bbiri obuyiiya bw’omuganda gyebweyolekera mu mulimu gw’okuyiisa omwenge? –  Assaako omuwemba negukula, akamula embidde n’azijjamu omubisi.

24. Ani yawandiika ekitabo Nnasobola Ekitasoboka? –  Waalabyeki Magoba.

25. Omuganda alina amagezi mangi era asobola okutega enkofu nga yeeyambisa kaamulali, akikola atya? – Amukolamu ensaano n’amuteeka mu nfuufu w’ezinaabira.

26. Mpa omuzizo omukulu ku kizibwe wo bwemutali ba kikula kimu? – Tomukwata mu kiseke.

27. Kalinda Luzzi ye mutaka akuuma oluzzi lwa Kabaka, Oluzzi olwo luweebwa linnya ki? –  Kanywabalangira.

28. Mpa emigaso ebiri egy’endeku ng’ekyobuwangwa. – Tuginyweramu omwenge n’okukwatiramu enseenene.

29. Akawujjo kebeeyambisa nga banywa omubisi gwebaakasogola bakakola mu ki? – Mu kyayi.

30. Omuganda waliwo ensolo gyawanuuzaako nti yesinga ginnaayo omukisa, nsolo ki eyo? – Mmese.

31. Olugero: Katyonsanze, – Tesakirwa mbazzi.

32. Mpaayo amannya abiri agaweebwa omwana azaaliddwa ku kkubo – Kaamuwanda oba Kaalugendo.

33. Ekisoko kino kitegeeza ki, okukwata agampiteeyite – Bwemuba nga muvudde wamu nga mugenda wamu naye buli omu n’akwata kkubo lirye.

34. Emmere eno ey’omuttaka batera okugigeraageranya ku muntu omumpi ate nga munene, yeeriwa? – Ejjuuni. (Kimpi jjuuni)

35. Olugero: Nkejje-nfu –  Ekira ennamu okutambula.

36. Ssinga jjajjaawo omukazi azaala kitaawo azaalayo omwana omulenzi mu bukadde bwe, oyo oba omuyita otya? – Taata.

37. Ekikolwa eky’okutendeka embwa eyige okuyigga kiweebwa linnya ki? – Okukangula embwa.

38. Abanywa emmindi balina ekintu muli ekibasikiriza okuginywa, kyeki? – Eddoowo.

39. Okujja obulembwe kisoko ekitegeeza okujja n’omuntu mu ngeri etali ya mirembe, tuwe ennono yaakyo –  Ebiwuka ebiyitibwa ebirembwe bitambulira mu kibinja.

40. Olugero: Kyosiga owenya –  Lubaale y’akyogera.

41. Okukifuuwa ng’okizza mu nda kisoko, kitegeeza ki? –  Kwejjusa.

42. Olubugo omutaka Kakinda Ow’ekkobe lwakomagira Kabaka luva ku mutuba ki? –  Olusika.

43. Emmese yayingidde akasuko omulundi gumu be –  Ccu.

44. Ennaku zino abalimi ba kasooli basooka kunnyika kasooli mu mazzi n’asulamu, mpa ensonga bbiri ezibakozesa kino – Okumugema endwadde n’okumusobozesa okumera obulungi

45. Emigaso ebiri egy’obutiko eri Omuganda. Nva era bukozesebwa ne ku mikolo ng’okumala abalongo

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Uganda Airlines mu butongole etandise engendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza
  • Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025
  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -