Munnauganda abadde Tusuubira Ibrahim abadde amanyiddwa ennyo nga Isma Olaxes oba Jajja Ichuli nga bw’abadde yeyita ku mikutu gyokumutimbagano akubiddwa amasasi agamuttiddewo.
Isma Olaxes era ng’abadde yeyita president wa Uganda Bloggers Association attiddwa ku ssaawa nga ssatu n’eddakiika 20 ez’ekiro ku lwomukaaga nga 06 May, 2023 bw’abadde agenda mu maka ge mu bitundu bye Kyanja Central zone mu gombolola ye Kawempe mu Kampala.
Isma amasasi bagamukubidde mu mmotoka ye No.UBK 213 D, abaddemu ne ddereeva we Wasswa Mathias.
Alipoota ya police eyakafulumizibwawo eraze nti omutemu asse Isma akozesezza emmundu kika kya SMG.
Abasirikale ba police bayiiriddwa mu kitundu okwongera okunoonyereza ku ttemu lino.
Bino webijidde nga wakayita ennaku bbiri ng’abadde minister omubeezi ow’abakozi Charles Okello Engolla yakakubwa amasasi agaamusse mu kitundu kye kimu ekye Kyanja.
Abadde omukuumi we Wilson Ssabiti yeyamukubye amasasi, oluvannyuma naye neyetta.#