Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obubaka bwe abutisse Omulangira Kintu Wasajja,abusomedde ku mukolo gw’okuziika John Naggenda e Bwotansimbi mu Buloba mu district ye Wakiso
Ssaabasajja ayogedde ku Naggenda ng’omuntu eyalaga obumalirivu n’obuvumu mu lutalo olwali olw’okuzzaawo Obwakabaka n’enfuga egoberera amateeka mu Uga
“Yoomu ku batono abaatuukiriza ekkatala n’obweyamo bwe. Tunaamujjukiranga”
Naggenda abadde muwabuzi wa president w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven ku nsonga z’amawulire.
Omulangirira David Kintu Wassajja ng’ayanjula obubaka bwa Ssaabasajja
Obubaka bwa president busomeddwa ssaabaminister Robinah Nabbanja.
Naggenda abadde omuwandiisi ow’ensonga ku bintu ebyenjwulo.
Yafiiridde ku Medipal hospital mu Kampala ku myaka 85. #