Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Kalifa Bin Zayed Al Nahyan, eyava mu bulamu bwensi eno wiiki ewedde.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambuddeko ku kitebe kya United Arab Emirates mu Kampala, nawandiika mu kitabo ky’abakungubazi.
Katikkiro ku kitebe kino ayaniriziddwa omubaka wa United Arab Emirates mu Uganda Abdallah Hassan Al Shamsi.
Katikkiro asuubizza okusaawo enkolagana ey’omuggundu ne government ya United Arab Emirates okutumbula obuweereza eri abantu ba Buganda ne Uganda yonna, naddala mu by’obulamu n’ebyenjigiriza.
Katikkiro ayogedde ku mugenzi Khalifah Bin Al Zayed ng’omuntu akoleredde ensi eyo ebintu ebyomuwendo mu kiseera ekitono ddala.
Abeebazizza olw’enkolagana obwakabaka gye bulina ne United Arab Emirates. nga bayita mu kitongole kya Red Crescent, eyabayambako okuzimba eddwaliro lya Bugande erye Nsangi.
Omubaka wa United Arab Emirates mu Uganda Abdallah Hassan Al Shamsi, agambye nti betegefu okwongera okuzimba enkolagana ennungi n’obwakabaka naddala ezirubirira okulakulanya abantu.

Omugenzi Sheikh Khalifah Bin Zayed yaffa nga 13 omwezi guno ku myaka 73, oluvanyuma lw’ekiseera ekiwanvu ng’atawanyizibwa obulwadde okuva mu 2014.
Sheikh Khalifah Bin Zayed yali mukulembeze wakubiri owa United Arab Emirates,era omukulembeze owe 16 owa Abdu Dhabi.