Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabazannyi abatasussa myaka 20 eya Uganda Hippos, etuuse mu kibuga Cairo ekya Misiri egenze kwetaba mu mpaka za Africa Cup of Nations U20 ez’omwaka guno.
Empaka za AFCON U20 zigenda kuberawo okuva nga 19 omwezi guno ogw’a February okutuuka nga 11 march.
Zigenda kuyindira mu bibuga 3 okuli Cairo, Ismailia ne Alexandria.
Uganda Hippos amakanda egakubye ku Aqua Resort Hotel mu kibuga Cairo, wabula wano egenda kubeerawo ennaku 2, n’oluvanyuma eyolekera ekibuga Ismailia gy’egenda okuzannyira emipiira gyayo egy’ekibinja B.
Uganda Hippos etendekebwa Jackson Mayanja Miya Miya, eri mu kibinja kye kimu ne Central African Republic, Congo Brazzaville ne South Sudan.
Mu mpaka za Africa Cup of Nations U20 ezasembayo, Uganda Hippos yakola ekyafaayo bwe yatuuka ku luzannya olwakamalirizo, naye Ghana n’egikubirayo goolo 2-0 n’egitwalako ekikopo ekyayindira mu Mauritania.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe