
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo emipiira gy’amasaza ga Buganda 2021,ku mupiira essaza lya Kyadondo kwerimegedde essaza lya Gomba Goolo 2 ku bwereere.
Omupiira guyindidde ku kisaawe kya FUFA Njeru Technical centre mu Buikwe Kyaggwe, nga bwegwali omwaka oguwedde, nga nekuluno temukkiriziddwamu bawagizi olw’okwewala okusaasaanya ekirwadde kya covid 19.
Embeera ebadde nzibu nnyo mu mupiira ogusoseewo, batabani ba Kitunzi e Gomba Jackson Musisi bwebatunudde ebikalu mu maaso g’Empologoma, nga batabani ba Kaggo Agness Nakibirige Ssempa Bannakyaddondwa babafuntula goolo 2:0.
Goolo za Kyaddondo ziteebeddwa mu ddakiika taano ezisoose mu kitundu ekisooka,nga ziteebeddwa George Kizza ne Kimera Kenneth.
Ggoolo esooka etebeddwa ng’eddakiika esooka ey’omuzannyo tenawera nnamba, ate ey’okubiri eteebeddwa mu ddakiika ey’okusatu.
Gomba ye nantameggwa w’empaka zino ez’omwaka oguwedde 2020,era nga yesinza ebikopo ebingi biri bitaano, Kyadonndo erina kimu yakifuna mu 2008.
Ssabasajja ku kisaawe kya FUFA Njeru Technical centre atuuse ku ssaawa mwenda n’eddakiika kkumi nga ayaniriziddwa omumyuuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Dr Twaha Kawaase , nateeka omukono mu kitabo kyabagenyi olwo ku ssaawa mwenda n’eddakiika abiri mu ssatu nateeka omukono ku mupiira ,akabonero akalaga nti empaka zikkiriziddwa okutandika.
Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’Okweewummuzaamu mu Bwakabaka Owek Henry Ssekabembe Kiberu agambye entandikwa y’empaka zino ebadde nnungi ddala, wadde nga wabaddewo okusoomozebwa kw’enteekateeka zonna okutwalira awamu okwaletebwa ekirwadde kya covid 19.Nagumya abaantu ba Kabaka nti buli kimu kikwatiddwa kannabwala, era emizannyo gyonna gyakuyindira Njeru.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi lw’amasaza Sulaiman Ssejjengo agambye okuva empaka zino lwezitandise okutuuka ku nkomerero, tebagenda kukkiriza busiwuufu bwampisa mu bazannyi.
Olunaku olw’enkya ku Sunday Buluuli ettunka ne Kabula.